"LET THERE BE LIGHT" Ministries
home  |  Lugandan Tracts

NAKOLA  KI  OKULOKOLEBWA?

     Bangi bebuza ekibuzo ky’ekimu ng’enkumi n’enkumi bwe zabuza ku lunaku lwa Pentekote. Ng’abakwatidwako olw’ebibi, b’ayogerera wagulu; “tunaakola tutya?”  Petero n’adamu n’abagamba nti “Mwenenye” Ebikolwa by’abatume 2:37-38.
     Waliyo bangi abalemererwa okutegera  okwenenya kye kiki. Bangi banakuwala nti bonoonye era ne bakola okudda obugya okw’okungulu kubanga batya nti okukola kw’obubi bwawe kujja kubaletera okubonabona kubo bennyini.  Naye kuno tekuba kwenenya okutufu okwo mu Bayibuli.  Bakungubagila okubonabona okusinga ekibi!
     Bayibuli teyigiriza nti omwononyi ateekwa okwenenya alyoke abulirize okuyita kwa Kurisito nti; “Mujje gye ndi mmwe mmwenna abakoye era abazitooweredwa nanga nnabawummuza.” Matoyo 11:28.  Obulungi bwe bugenda okuva eri Kurisito nga butukulembera mu kwenenya okwanamadala.  Petero y’ayogera buterevu mu bintu by’eyayogera na Isiraeri bw’eyayogera, “Oyo Katonda yamulinyisa ku mukono gwe ogwo ddyo okubera omukulu era omulokozi, okuwaayo eri Isiraeri okwenenya n’okuggibwako ebibbi.”  Ebikolwa By’atume 5:31.Tetusobola n’akatono okwenenya awatali Omwoyo wa Kurisito okuzukusa endoboza zaffe okusinga bwe tuyinza okusonyiyibwa awatali musayi gwa Kurisito.

     Kurisito y’ensibuko yabuli kufumintiriza okulungi.  Yye yeka ayinza okusimba mu mitima gyaffe obukyayi bw’ekibbi.  Okwagala kwonno kwolina eri amazima era n’okwetukuza, okukwatibwako kwonna mu bwononnefu bwo, kye kilaga nti Omwoyo bwe alikukola ku mutima gwo.
     Omwoyo gwo bwe gugondera okusikiriza kw’Omwyo wa Katonda, endoboza ejjakwanguyirizibwa, era n’omwononnyi ajja kwawulawo ekiwanvu era n’obutukuvu bw’omusingi gw’enfugga ya Katonda mu ggulu era n’ensi — nga ge mateeka ge amatukuvu. “Omusana ogw’amazima ogwakira buli muntu, nga gujja mu nsi,” gummulisa ebyama byonna mu bitundu by’omwoyo, era byonna ebyakwekewa mu nzikiza bibikulibwa (laba Yokana 1:9). Okukwatibwako kutandika mu ndoboza ne mu mutima. Omwononnyi afuna okutegera kw’obutukirivu wa Katonda era n’abulira okutya okulabika mu bwononefe bwe era n’obutali bulongofu, mu maaso g’Omunonyerizi w’emitima.  Era alaba okwagala kwa Katonda, mu bulungi bw’obutukuvu, essanyu lyo bulongofu; ayagala nnyo okulongosebwa era n’okuzibwawo mu nkolagana ne ggulu.

     Yesu ayogera; “nange bwe ndiwanikibwa ku nsi ndiwalulira gye ndi bonna.” Yokana 12:32.  Kurisito ateekwa okumanyibwa gyoli nga omulokozi eyatufirira olw’ebibbi era n’ebibbi by’ensi; era laba omwana gw’endiga ogwo Katonda ku musalaba, ekyama eky’okulokolebwa kitandika okw’ebikula eri okutegerakwo era n’obulungi bwa Katonda bugya kukuletera okwenenya.  Mukufirira abononnyi, Kurisito yebikula mu kwagala okutakoma; era bw’olaba okwagala kunno, kujja kugonza omutima, kusikirize endoboza, era kutandisewo okubonerera mu meeme yo.
     Oyinza okulemesa okwagala kunno era oyinza okugana okuletewa awali Kurisito; naye singa togana, ojja kuletewa buterevu awali Yesu.  Era bw’onolaba Omulokozi ku musalaba, oyinza okwebunya era n’obuza; “Lwaki omusajja ono yalina okuffa?”  Eky’okuddamu kiri; Olw’ekiibi.  Ekibi y’ensonga lwaki Kurisito yalina okuffa.  Naye ekibi kyeki?  Okujjemera amateeka (1Yokana 3:4).  Mateeka kyi?  Amateeka ekumi aga Katonda.
     Nga amateeka ganno 10 g’ekananyizibwa, kijja buterevu nti tewali n’omu ey’agakuma bulungi, era olwono bonna bayonnona era bagwana kuffa (Abarumi 3:23; 6:23).  Naye nga bwekenenya obulamu wa Kurisito obulungi, kijja kuzulibwa nti Yakuma amateeka ga Kitawe gonna bulungi era n’atayononna, kale lwaki Yalina okuffa ku musalaba?  Kubanga Kitaffe yatuma Yesu wansi okulokola abononnyi okuva mu kuwonerezebwa kw’okuffa.

     Omwononnyi olwono n’atandika okutegera okwagala okw’ekitalo Katonda Kitaffe kw’alina gyetuli nga atuma Omwana we omu yekka okubera omutango olw’ekibonerezo ky’ekibi, era nti Yesu atekwa okuba nga amwagala nnyo naye alyoke yeweyo okugumikiriza okukomererwa.  Era kitandika okubikurwa nti singa tewaliwo n’omu eyali amenye amateeka ga Katonda, kati Kurisito teyandisanidde kuffa.
     Omwononnyi atandika okutegera nti kubanga yalondawo ekibi, kino kyalaga okumusinga okutekayo Omulokozi ku musalaba era ng’amutta.  Mukutegera kinno omutima gwe gufuka omumenyefu, era nti awatali kusonyiyibwa olw’ebibi ajja kubula. Olw’ono entekateka ey’obulokozi yonna —Kurisito ng’omununuzi bwaffe Omutango, era kabona mu maaso ga Katonda olw’okuggibwako ebiibi — kutandika okugulwawo mu maaso ge. Alaba nti Kurisito yekka ly’esubi ly’obulokozi, ng’agata wakati wa Katonda era n’omuntu, ye Yekka ayinza okugata olukonko ekiibi kye lwakola era n’amuleta mu nkolagana era n’okusa ekimu ne Katonda era n’amateeka ge nate (1 Yokana 1:9).
     Okuva mu kwagala Katonda era ne Kurisito, okusalawo kukolewa obutamenyanga mateeka ga Katonda omulundi gwona. Naye kitya, oyinza okwebunya?  “Nyinza ntya obutayonona nate omulundi gwona?”  Kurisito nga akyali mu nsi y’ayinza atya okulemesa okukemewa mu buli nkola gye yatambulamu?  Kwali okuyita mu kukiriza nti Kurisito yafuna amanyi era n’ekisa okuva ewa Kitawe ekyamusoboseza okuwangula ebikemo byonna era n’okubyewala.  Kurisito yewala okugezesewa kwa satani nga alina amateeka ga Katonda nga gawandikibwa mu mutima gwe era nga mukozi ow’okwagala kwa Katonda (Zabuli 40:8, 119:11).  Olw’ono omwononyi yenna, nga agezako mu kukiriza okwekumu mu Katonda nga Kurisito bwe yakola, ajja kuba n’amateeka ga Katonda nga gawandikidwa mu mitima gyawe era bajja kuwebwa ekisa n’amanyi okuva ewa Katonda okuyita mu Kurisito okubasoboseza okuyita mu ebikemo byonna era n’okuwangula okugezesewa kwa satani kwonna kubanga bamugoberera era bakozi ba kwagala kwa Katonda.     

     Olw’ono kiba okuyita mu kwagala Katonda era ne Kurisito gye yatuma nti omwononyi amalirila okukuma amateeka ga Katonda era n’afuka omukozi bw’okwagala kwe.  Era obutukirivu wa Kurisito bufuka obw’okukiriza, katonda afuka Kitawe era naffe abaana be (2 Abakoliso 6:14-18).  Kale okutegera okujja bulungi nti amateeka ga Katonda z’empisa y’enkola ye mu buwandike, era nti Kurisito ky’ekitibwa era n’obutukirivu obw’amateeka ago.
     Singa oyagala ekintu ekisingako ensi eno kye tasobola kukuwa, tegera okwagala kunno nga lye eddoboozi lya Mukama eri obulamu bwo.  Musabe akuwe okwenenya okutufu, okulaga Kurisito mu kwagala okw’ekitalo era n’emubutukuvu obutukiridde.  Mu bulamu w’omulokozi enkola ya mateeka ga Katonda — okwagala okusingako eri Katonda era okwagala eri abantu banaffe — kwalagibwa nga eky’okulabirako mu bulungi.  Obulungi era n’obutefako bw’okwagala kwe ggwe musingi gwa buli kikolwa kye.  Kiba buli lwe tulaba Kurisito era ne tukiriza omusana okuva ew’Omulokozi okutwakila ffe nti lwe tunalaba obubi ow’omumitima gyaffe era n’etutandika okwagala Kurisito okutunaza era atujjuze n’Omwoyo we omulungi.
     Oyinza okuba nga waloboza nti obulamu wo bubadde bulungi era n’empisa z’enkola yemeeme yo nga nungi, era n’oloboza nti tewataga kumenyeka mumutima mu maaso ga Katonda nga omwononyi owa bulijjo: naye omusana oguva ewa Kurisito bwe gwakira mu emeeme yo, ojja kulaba nti ekibi kyayonona buli kikolwa eky’obulamu wo.  Kale ojja kumanya nti obutukirivu bwo bulinga enzina enkyafu (Isaya 64:6), era nti omusayi gwa Kurisito gwe gwokka oguyinza okukulongosa okuva mu bwononefu bw’ekibi, era aguzze bugya omutima gwo mu kifananyi Kye.

     Omusana gw’ekitibwa kya Katonda, okwakayakana kw’obutukuvu bwa Kurisito, okuyingira mu bulamu, kufula amabala g’obwononefuwo nga g’anjabulo, era ganjala obw’enonefu, era n’okulemelerwa kw’ebikolwa by’obuntu.  Kifula endoboza elabika nga sintukuvu, obutali bulongofu bw’omutima, empita mbi eyo mukamwa ko.  Tewaba kibi ekikolebwa ekiyinza okukwekewa, naye kijja kuyimirila wamu naffe mukusala omusango okujjako nga twenenyezza era kifune okubikibwako okw’omusayi gwa Kurisito.  Ebikolwa byona eby’obutagonda okujjemera amateeka ga Katonda tebiyinza kukwekewa, naye bijja kujjibwayo eri omwononyi wansi bw’okunonyereza kw’okusikirizibwa kw’Omwyo wa Katonda.  Mukukwatiwako kunno, Omwoyo we alaga obubi era n’abikugaana nga olw’okugula obukyufu, empisa ezitalimu mabala eza Kurisito.
     Singa welabanga tolina kibi kyonna, tolindirira okwekolako bwekka obulungi.  Naye bangi bakiriza nga sibalungi kimala okujja eri Kurisito, era ne balinda okutusa lwe babela obulungi. Naye tosubiranga kuba burungi okuyita mu kwefako bwekka (laba Yeremiya 13:23).  Waliwo okuyambiwa mu Katonda mwokka. Tolinda kusikirizibwa kwa manyi, omukisa omulungi weguli, oba obutukuvu obw’amangu.  Tolina kyojja kukola wekka. Otekwa okujja eri Kurisito nga bwoli.
     Naye tolinda ekisera kiwanvu nnyo!  Tewelimba wekka n’ekirobozo nti Katonda mu kwagala kwe okumgi era n’ekisa ajja kulokola n’abo abagana ekisa kye.  Okuyitirira kwe kibi kuyinza okupimiwa mu musana gw’omusalaba.  Abantu bwe bagamba nti Katonda mulungi nnyo tasobola kuleka bonnonyi’ Baleke batunulire omusalaba. Kyali nti Tewaliwo ngeri ndala yonna omuntu mweyandiyinziza okuyita okulokolewa nti Kurisito ne yewayo okuffa ku musalaba.  Awatali okwagala okw’ekitalo okw’asadaka kyali kizibu olulyo lw’omuntu okubona okuva mu kwononebwa kwa manyi ge kibi era luzibweyo munkolagana n’ebitonde ebitukuvu; kyali kizibu byo okufuka abagabana ku bulamu obw’omwoyo.  Okusinzira ku mazima ganno nti Kurisito yetwalira obubi bw’okugyema era n’abonyabonyezewa mu kifo ky’omwononyi.  Okwagala, okubonyabonyezewa, era n’okuffa okw’omwana wa Katonda kulaga obuzibu bw’ekikula ky’ekibi era n’ebulaga nti tewaliwo kubonna okuva mu manyi gakyo, tewaliwo subi damu era n’obulamu obulungi, naye okugyako okuyita mu kuwayo obulamu  eri Kurisito.

     Adamu ne Kawa basikirizibwa bokka n’ekintu ekitono nga okulya kukibala ekyabaginiwa temwandivudemu obubi obw’ekitalo nga Katonda bw’eyayogera.  Naye ekintu ekitono kinno kyali okwonoona eri Katonda na amateeka ge amatukuvu era agatakyuka, era n’ekibabukanya okuva ku Katonda era nekigulawo omulyango g’okuffa era n’okubonabona okutayogerekeka eri ensi. Eggulu lyokka lyalaba obubi bw’okujjemera Katonda. Omusalaba guyimirirawo nga ekijukizo ekyebunyisa eky’asadaka eyali yetagisa okulongosa okwonoona kw’omuntu eri amateeka ge ggulu. Lekka tuleme kutwala ekibi nga ekintu ekitatuli bubi.  Ekibi kikosa omuwendo nga ogw’obulamu bw’omwana wa Katonda okusobola okununula omuntu okuva mukyo.
     Bangi bakiriza mu eddini ya bamagezi, enkola y’obulungi ate nga omutima simulongofu.  Kakubere okusaba kwo eri Katonda “Ontondemu omutima omulongufu...onzizeemu omwoyo omulungi mu nda yange.” Zabuli 51:10.  Kolanga bulungi n’emeemeyo. Beera mwesigwa, alemelako, nga bwewandibade singa obulamu bwo buli mu kizubu — kubanga mwebuli. Eno esonga esana okuterezewa wakatiwo ne Katonda. Esubi erisana era tewali kilala, ekijja okukakasa okubula emirembe gyonna.
     Yigga ekigambo kya Katonda ngo osaba. Ekigambo kikuretera mu masogo, amateeka ga  Katonda era n’obulamu wa Kurisito, enkola ey’ekitalo ey’obutukuvu, “awatali obwo siwali aliraba Mukama” Abaebbulaniya 12:14. Kikusikiriza ku kibi, kilambika buterevu ekubo ely’obulokozi.  Kiwa okwekuma nga edobozi lya katonda lyogera eri emeemeyo era nga bwoli gondera ojja kulongosewa era otewe okuva mu manyi ge ekibi okuyita mu manyi era n’okukola kwa Katondamu bulamu wo.
     “Omuvubuka onaalongosanga atya ekkubo lye?  Nga yeegendereza ng’ekigambo kyo kiri.” Zabuli 119:9.

     “...mutuukirizenga obulokozi bwammwe bennyini n’okutya n’okunkakana; kubanga Katonda yakoza mu mmwe okwagala n’okukola, olwokusiima kwe okulungi.” Abafiripi 2:12-13.

     Nga bw’olaba obuzibu bw’ekikula ky’ekibi nga bwe welaba nga bwoli, tewewayo ng’olemeredwa.Yali mwonoonyi nti Kurisito yajja okulokola.  Tetulina kugata Katonda naffe, naye — okwagala okwebunyisa! — Katonda yali mu Kurisito “ng’atabaganya ensi naye” 2 Abakkolinso 5:19.   Agezako okuyita n’okwagala kwe emitima gya abaana be abonoona.  Tewali muzadde ku nsi eyandiguminkiriza ne bisobyo era n’okwonoona kwa abana nga Katonda bwali nabo nga abanonya okulokola.  Tewali n’omu eyandiborereza n’okwagala omwononyi.  Tewali mimmwa gy’abuntu  egyali gyogede n’okusasira eri omutambuze okusinga nga Yee wakola.  Okusubiza kwe kwonna, okulabula kwe, biri  naye nga okusa kwo kwagala okutakyuka.
     Ate nga Satani wajja okukugamba nti oli mwononyi omukulu era nti sikyamugaso okugezako era n’okuwereza Katonda, tunulira wagulu eri omununuzi wo era laba omusana era yogera ku bulungi bwe. Manya ekibi kyo, naye bulira omulabe bwo, “ nti Kurisito Yesu yajja mu nsi okulokola abalina ebibi; mu bo nze w’olubereberye” era nti oyinza okulokolewa n’okwagala kwe okutakoma (laba 1 Timosewo 1:15).  Tubade bononyi nnyo nyinni, naye Kurisito yatufirira tusobole okusonyiyiwa.  Obulungi bwa sadaka ye bumala okuwewayo eri Kitawe ku lwaffe.  Eri abo beyasonyiwa ennyo bajja kumwagala nnyo, bategere nnyo okwagala kwa Katonda nti tutekwa okutegera obubi we kibi.  Bwe tulaba obuwanvu bw’olukalala olwajja okuva mu ggulu ku lwaffe, lwetujja ekintu eky’asadaka etaliko komo Kurisito gye yawayo ku lwaffe, omutima ne gusanuka n’okwagala era n’okubonerera.

     Okwenenya ebibi byaffe kyetagisa (laba mu Engero 29:1; Lukka 13:2-5; Okubkkulirwa 2:5), naye bwe tweyongera awatali kwenenya olw’ebibi tekija kuletawo kintu kyonna. Kale “mubale ebibala ebisananira okwenenya” Lukka 3:8.  Mungeri endala, tutekwa okuleka era tuteka wala ebibi byaffe (laba Engero 28:13; Abaefeso 4:17-32).  Naye leka tuleme okulekerawo omulimu ogw’okulekanga ebibi byaffe era nga tunonya obutukuvu w’omutima okuyita mu Yesu, kubanga kibi ne bwe kiba kitono kiyinza okulabika, tuyinza okukyegayanguliramu n’ofirwa obulamu bwo.  Kyetutawangula kijja kutuwangula ffe era kitukolere okuzikirira. Bwetulondawo okwonona, tuba abadu b’ekibi era mu busibe eri omutandisi bwakyo — Satani (laba Yokana 8:34; Abarumi 6:16; 2 Petero 2:19; 1 Yokana 3:8).  Era empera Satani gyawa abadu be tebaamala kuberewo — “kubanga empera y’ekibi kwe kuffa” (Abarumi 6:23).  Naye singa olondawo okuwereza Katonda, kati otewa okuva mu kibi okuyita mu Kurisito.  Era Kurisito kyawa abagoberzibe abasigwa kibamaala okuba abalamu kubanga “ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwawo  mu Kurisito Yesu Mukama waffe” (Abarumi 6:23).

     Naye buli kikolwa eky’okwonona, buli kugayirira oba okugana, ekisa kya Kurisito, oba bwekola bwekka, okakkanyaza omutima, ng’olemesa okwagala nga bwejjamu okutegera era tekikukendeza kugana okuvamu ekirungi, naye osubira kitono nnyo okuvamu akarungi, eri obwagazi bw’okwegayirira kw’Omwyo Omutukuvu wa Katonda.
     Yadde ekikolwa kimu eky’empisa embi oba okwegomba kw’ekibi nga kyagalibwa obutalekebwawo, kijja kukumalamu amanyi g’enjiri.  Buli kibi ky’ebwegayangulimu kinyweza obulamuwo okuva ku Katonda.  Abo abalaga obutayagala Katonda oba ekigambo kye, balikungula okukungula mu ekyo kyebasiga.  Mu Bayibuli yonna tewaliwo kulabula kutisa okuzanyikiriza n’obubi okusinga nti “era alisibibwa n’emigwa egy’okwonoona kwe.” Engero 5:22.
     Kurisito mmwetegefu okukutta okuva mu kibi, naye tajja kuwaliriza okwagala  kwo, era singa onolemela mu kwonoona okwagala kwo kujja kwe kubira  ku bubi, era tewajja kubawo kwagala kutewa okuba ow’eddembe era tojja kukiriza ekisa kye, kiki ekisingako awo kyayinza okukola?  Omaze okumalirira okwezikiriza nga ogana okwagala kwe.  Naye ekikangabo kinno tekisana okuba enkomelero yo.  “...Kurisito Yesu yajja mu nsi okulokola abalina ebibi; mubo nze obw’olubereberye.”  “Laba kaakano bye biro ebyokukkirizibwamu; laba, kaakano lwe lunaku olw’obulokozi.”  “Leero bwe munaabulira eddoboozi lye, temukakanyaza mitima gyammwe.” 1 Timosewo 1:15; 2 Abakolinso 6:2; Abaebbulaniya 3:7-8.

Wewandise mukubanguliwa okuyiga Baibuli EYOBWERERE, oba oyagala okumanya, ebisingako wandikira:

NAHATE JOEL
P.O. Box 268,
Tororo, Uganda, East Africa.
nahatesam@yahoo.co.uk