"LET THERE BE LIGHT" Ministries
home  |  Lugandan Tracts

EKANISA  YA  KATONDA  EY’AMAZIMA

     N’ebibinna eby’enjabulo nga 100 leero byonna nga byeyogerako okuba ekanisa ya Katonda ey’amazima, ate nga bikonagana byokka na byokka mu nzikiriza, byonna biyinza okuba ekanisa ya Katonda ey’amazima?  Emyaka nga lukumi ekibuzo kinno kibadde kyebuzibwa balyoke basobole okumanya ekanisa ya Katonda ey’amazima.  Tuyinza tutya okumanya n’okwekakasa?
     Okutegera ekintu kinno ekikuklu kwe kuzula eddembe mu Yesu Kurisito, naye obutakitegera kwe kuba nga okumidwa mu kikoligo era mu bunyage wa Satani.  Kyamuwendo gw’awaggulu nnyo nti buli omu atwale ekisera okuyiga kululwe okutegera ani era kiki ekifula ekinisa ya Katonda okuba ey’amazima.


ENGERI EY’OGYITEGERA OTYA?

     Engeri yokka ey’okutegera kinno kwe kufuna okumanya era n’amagezi, naye nga gava wa?  Tuyinza okwesigama ku kumanya era n’amagezi okuva mu by’ensi byokka?  Nedda, kubanga ku kinno tuyinza okufuka abalabe ba Katonda (laba Yakobo 4:4).  Tuyinza okwesigama ku kumanya era n’amagezi okuva mu abantu abalala? Nedda, kubanga singa twesigama ku bigambo by’abantu abalala – yadde Papa oba bakabona, abawereza oba abakadde, Gguru oba Shamani – tujja kukolimirwa (laba Yeremiya 17:5).  Tuyinza okwesigama ku magezi gaffe gokka?  Nedda, kubanga obwo bwe busirusiru (laba 1 Abakkolinso 1:19-20, 3:19).
     Kati wa bwe tusobola okufuna okumanya era n’amagezi getuyinza okutegererako ani era kiki ekifula ekanisa ya Katonda okuba ey’amazima?  Etekwa okuba nga eva ewa Katonda mmwennyini era mu kusasirakwe okungi atusubiza okutuwa okumanya era n’amagezi ge twetaga okutegera amazima ge (laba Yakobo 1:5; Yokana 7:17, 14:26).  Amagezi era n’okumanya okuva eri Katonda, nga bwe kisangiwa mu kigambo kye ekyabikulibwa, kitekwa okuba omusingi gwaffe GWOKKA era ogwesigiwa okugezesa okutegera amazima g’ekintu kinno ekikulu.  “Tudde eri amateeka n’obujulirwa!  Oba nga tebogera ng’ekigambo ekyo bwe kiri, mazima obudde tebugenda kubakeerera.” Isaaya 8:20.
     “Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, omukozi atakwatibwa nsonyi, ayisa wakati ekigambo eky’amazima.” 2 Timoseewo 2:15.


EKANISA YA KATONDA EY’AMAZIMA KIBINA?

     Bangi bayigiriziwa nti ekanisa ya katonda ey’amazima kibina ekirina obumalirivu okusinza Katonda.  Waliwo okwagala muwangu okuzula ebimu ku bibina eby’okwegatako, naye kyekiriwa? Okulonda ekimu ku 100 oba kati ebibinna, buli kimu nga kigamba bulungi nti kyekyo era ekanisa ya Katonda yokka, kiyinza okuba eky’okukola ekizibu!  Abamu bamaze n’okulowoza nti tekitekawo njabulo ku kiriwa kubanga amakanisa gonna gatuka mu ggulu. Kinno kijja kuba nga bamaze okukirizisibwa nti batekwa okuba nga abamemba oba nga balina akekusako, ku kibina okusinza Katonda, okuba ow’omukanisa ey’amazima, era nga okuba n’obulokozi nga bukakasibwa.  Naye kinno sikyebiyigiriza ebyawandikiwa ebikwata ku kanisa ya Katoda ey’amaazima!
     Yesu yeyogerako era n’ekanisa ya Katonda ey’amazima:
     “Nze musumba omulungi: era ntegeera ezange, n’ezange nzitegeera....nange mpayo obulamu bwange olw’endiga...era ziriba ekisibo kimu, omusumba omu? Yokana 10:14-16.
     Yesu yakyogera nti Katonda alina “ekisibo kimu” oba ekanisa emu, nga sinyingi! Amazima g’ebyewandikibwa gagyawo endobooza nti ebibbina awamu bikola ekanisa ya Katonda. Ekigambo “ekisibo” kikyusibwa nga “abogoberezi” (laba Strong’s Concordance, #4167).  Kati ani akola ekifanana ekanisa ya Katonda ey’amazima, “Ekisibo kye ekimu” oba “abagoberezi”.  Kasita ebibbina byonna tebisobola okuba ekisibo ekimu, eky’abagoberezi ba Katonda bayinza okuba ekibina ekyeyabudde?
     “Nammwe, endiga zange, endiga ez’omu ddundiro lyange muli bantu, nange ndi Katonda wammwe, wayogera Mukama katonda.” Ezeekyeri 34:31.
     Ekanisa ya Katonda ey’amazima emu, eddundiro lye limu, ekisibo kye ekimu leero nga sibingi – tofayo oba bagulumiza erinya lyakyo, oba batula n’amannyi – kubanga ekanisa ya Katonda emu ey’amazima ekolebwa bantu.  Tusana okutegere ensonga eno enkulu ku mazima ganno nti ekanisa ya Katonda ekolebwa bantu sosi kibina, basobole okubera abeddembe mu Yesu era baleme okweyongera okusigala mu kikoligo era mu wuwambe eri abantu!


EKANISA YA KATONDA EY’AMAZIMA BE BANTU BE !
     Okumanya kunno okulongufu ku Kanisa ya Katonda ekolewa bantu era nga sikibina kyonna, nga kibafula abeddembe mu Yesu, era kikuklembera bulungi okutegera ebintu ebilala ebikwata ku kanisa ya Katonda.  Olw’ono enzikiriza nti ekanisa ya Katonda ey’amazima kye kibina, kijja kukutwala mu kikoligo na bantu, era mu butategera ebintu ebilala ebikwata ku kanisa ya Katonda.
     Abamu bayinza okufuna obuzibu mu kulaba enjabulo wakati w’entegeragana ebiri, kati leka mu bumpi twekanannye ebidirira ebikwatagana n’ekintu kinno, era kijja kulabika bulungi lwaki omuntu atuka mu dembe lya Kurisito, ate nga ekilala kikulembera mu kikoligo kya bantu.
     Baibuli eyigiriza nti katonda alikuwa ekiwummulo bonna buli azitoweredwa (laba Isaaya 28:12, 30:5; Yeremiya 6:16). N’okutegera nti ekanisa ya Katonda ekolebwa bantu, kale tujja kunonnyereza buli kinnomu ekiwummulo kyaffe nga tugenda buterevu eri Yesu (laba Zabuli 37:7; Matayo 11:28-30), era singa tulonda okumuvako, kati tufira ekiwummulo kyaffe era n’obulokozi.  Ate nga n’okutegera nti ekanisa ya Katonda kye kibina, kati tuyinza okufuna ekiwummulo kyaffe nga tugenze buterevu eri ekibina era singa tulondawo okuva mu kibina, kati tukiriza nti tulesewo ekiwummulo kyaffe era tubuze.
     Baibuli eyigiriza nti ekanisa ya Katonda gwe mubiri gwa Kurisito (laba 1 Abakolinso 12:27; Abefeso 1:23, 5:30).  Kale mukutegera nti ekanisa ya Katonda ey’amazima ekolewa bantu, kati buli kinomu afuka ekitundu ky’omubiri gwa Kurisito nga yegata ne Kurisito yennyini era babatiziwa (laba Abegalatiya 3:27-29; Matayo 12:30; Abarumi 12:5; Makko 16:16).  Era singa tulondawo okuva ku Kurisito, Kati tetujja kuba ebintundu eby’omubiri gwa Kurisito oba ekanisa era netubula.  Ate nga n’okutegera nti ekanisa ya Katonda kye kibina, kati tufuka ekintundu ky’omubiri gwa Kurisito nga twegata ku kibina okuyita mu kubatiziwa.  Era singa tulondawo okuva mu kibina oba ne tusulibwa okukivamu, kati tujja kukiriza nti tetukyali bitundu by’omubiri gwa Kurisito era tujja kubula.
     Baibuli nate eyigiriza nti abantu ba Katonda balifuna obutafa oba obulamu obutagwawo (laba Abarumi 2:7).  Bwe tutegera nti ekanisa ya Katonda ekolebwa abantu, kati tujja kufuna obulamu obutagwawo okuyita mu Yesu mmwokka (laba 1 Timosewo 1:16-17; 1 Yokana 1:1-2; Yokana 1:1-4,14:6), era bwetwejjako ffeka ku Yesu, tetulina mukisa gwa bulamu obutagwawo era n’obulokozi. Ate nga bwetutegera nti ekanisa ya Katonda kye kibina, kati tuzula obulamu obutagwawo okuyita mu kibina era bwetwejjako ffeka ku kibina tukiriza nga tetulina mukisa gwa bulamu obutagwawo oba obulokozi.


ESONGA ENO EKWATA KU BY’OBULOKOZI BWO!

     Ebintu binno byonna bikwata ku by’oulokozi bwo!  Baibuli mubutufu eyigiriza nti tutekwa okulokolewa (laba 1 Timosewo 2:3-4).  Okutegera nti ekanisa ya Katonda ekolebwa bantu, twandizudde obulokozi nga tukwatagana ffeka buterevu eri Yesu Kurisito (laba Yokana 3:17; Isaaya 45:22; Ebikolwa by’abatume 2:21, 4:10-12, 15:11, 16:30-31; Abarumi 5:9-10), era mukweyabula okuva ku Kurisito, tubula.  Ate nga bwetutegera nti ekanisa ya Katonda kye kibina, kati tuzula obulokozi waffe nga tukwatagana ffeka eri ekibina, era mu kweyabula ffeka okuva ku kibina, tukiriza nga tubuze.


DEMBE OBA OBUDDU?

     Nsaba n’okwegayirira nti osobobole okwawulawo enjabulo wakati bwe nddobooza zinno ebiri enzibu era ekubo lye zikulaga oligoberere.  Elimu likulembera mu dembe ne mirembe mu Kurisito, endala ekukulembera mu obuddu era n’obuwambe eri abantu!  Ganno ge mazima ge njiri ye Baibuli eyetolola ku Yesu, obulala bulimba obwekikatulika obwetolola ku Satani!  Nsubira nti ojja kutegera nti singa okiriza nti ekanisa ya Katonda ey’amazima kye kibina, nti onaba oli mu obuddu eri abantu abafuga ekanisa.  Era ekisinga obubi, nti Kurisito aba anyagidwa nga omulokozi bwo kubanga ekibina kitute ekifo kye – kifuse ekintu kye bwesinza era ensibuuko y’obulokozi bwo!
     Eky’okusalirwa mu kinno, ekibina ky’ekanisa kifuliwa ekintu ky’okwesinza mu kifo kya Kurisito, kyekyo kyennyini abayudaya kyebakulemberwamu.
     Abayudaya bawayira Sitefano olw’okwogera “ebigambo ebibi eri ekifo kinno ekitukuvu” oba ku kanisa yabwa (laba Ebikolwa By’abatume 6:13). Era ebigambo bya Sitefono byali ki?
     “Naye Sulemaani n’amuzimbira ennyumba.  Naye Ali waggulu ennyo tatuula mu nnyumba ezaakolebwa n’emikono; nga nnabi bw’ayogera nti Eggulu ye ntebe y’ebigere byange: Nnyumba ki gye mulinzimbira?  Bw’ayogera Mukama: Oba kifi ki mwe ndibummulira?  Omukono gwange si gwe gwabikola ebyo byonna?” Ebikolwa By’atume 7:47-50.
     Sitefano yali abuulira bamemba b’ekanisa ya bayudaya nti mu mukisera ekye Ndagano Empya, Katonda tabela mu bizimbe ebikolewa ne mikono, naye ayagala okubela mu mitima gwabuli bantu be okuyita mu Yesu kurisito.  Mu bigambo ebilala, Sitefano yali ababuulira nti omuntu yenna ayagala okusinza Katonda atekwa okumusinza mu mwoyo ne mu mazima, nti tewali nomu eyali yetagisa okubera mukibina ky’ekanisa oba okukyalira yekalu alyoke asinze Katonda.  Mu mazima omuntu omu yabuza Kurisito ekibuzo butervu kyekimu ku gabina ga maku??aniro, era soma n’obwegendereza okuddamu kwe.
     “Omukazi (ow’eSamaliya) n’amugamba nti Ssebo, ndaba nti oli nnabi. Bajjajjaffe baasinzizanga ku lusozi luno (Yekalu eyali ku lusozi Gerizimu); nammwe mugamba nti Yerusalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.  Yesu n’amugamba nti Omukyala, nzikiriza, ekisera kijja kye batalisinzingamu Kitaffe ku lusozi luno newankubade mu Yerusalemi.  Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi: kubanga (Obubaka) obulokozi buva mu (bwawebwa) Bayudaaya. Naye ekisera kijja, era kituse abasinza amazima lwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo n’amazima: kubanga Kitaffe anoonya abali ng’abo okubeera ab’okumusinzanga. Katonda gwe mwoyo: nabo abamusinza kibagwanira okusinzanga mu mwoyo n’amazima.” Yokana 4:19-24.
     Kale ekanisa ya Katonda tekolewa na kibina kino oba kiri, naye ekolewa na buli kinomu asinza Katonda mu mwoyo n’amazima. Tosana kunonya ekibina kyonna alyoke osobole okusinza Katonda, naye oyinza okumusinza mu maaka gamwe gennyini – kale nga abayigirizwa era n’abagoberezi ba Kurisito basaalawo okukikola (laba Abarumi 16:5; 1 Abakolinso 16:19; Abakolosayi 4:15; Filimooni 2).


TETUKYALI WANSI W’ENKOLA Y’ENDAGONO ENKADE

     Amazima ga Baibuli gali nti tetukyali wansi w’enkola y’endagano enkadde nti okuberawo kwa Katonda bwekwaberenga mu yekalu z’ebizimbe abantu gyebalina okudda okusinza Katonda. Naye tuli wansi bw’enkola yendagano empya, okuberawo kwa Katonda gyekubera mu yekalu y’emibiri gyaffe – mu mitima gyaffe oba ebirobozo – gyayagala okuwandika amateeka ge!
     “Kubanga eno ye ndagano gye ndiragaana n’ennyumba ya Isiraeri, Oluvanyuma lw’ennaku ziri, bw’ayogera Mukam;Nditeka amateeka gange mu magezi gaabwe, era ne ku mitima gwabwe ndigawandika; Nange nnaberanga Katonda gye bali, Nabo banaabeeranga bantu gye ndi.” Abaebbulaniya 8:10.
     “…kubanga ffe tuli yeekaalu ya Katonda omulamu; nga Katonda bwe yayogera nti Nnaabeeranga mubo ne tamburilanga mu bo nange nnabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.” 2 Abakkolinso 6:16.
     Katonda atendereezebwe olw’okutegera kuno okutufu! Kati tewali nomu ajja okusigala mu buddu eri obuwereza obwayonoonebwa oba eri ekanisa eyagwa ,naye bayinza okuzula eddembe mu Yesu Kurisito!
     Buli ekibina kyonna oba ekibinja ky’eddini kiteka ekigamba nti be bali mu kanisa ya Katonda ey’amazima, era n’olwekyo obulokozi bwo busekererwa singa okiriza okweyabula okubavamu, oba osulibwa, n’osibibwa, oba n’osulibwa okubavamu, kati oyinza okumanya nti basudde Kurisito bwabweru bw’ekanisa yabwe era batute ekiffo kye mu bantube!  Naye kinno kijja kitya okuba ekitufu?
     Baibuli eyigiriza “mu” era “okuyita mu” Yesu Kurisito nti:
– Tuzula “amazima” (Yokana 14:6);
– Tufuka ekitundu ku Ndagano Empya (2 Abakkolinso 3:13-18);
– Tufuna “okunnulibwa” (Abarumi 3:24; Abefeso 1:7);
– Ebibi biyinzika “okutugyibwako” (Ebikolwa By’abatume 13:39);
– Tufuka abatukirivu (Yeremiya 23:6; 2 Abakkolinso 5:21);
– Tulina “eddembe” ne Katonda (Abarumi 5:1; Abafiripi 4:7; Abakolosayi 1:20);
– Tulina “obwangu” okutuka eri Kitaffe (Abaefeso 2:18);
– Katonda alaga “okusasira kwe” (Abaefeso 2:7);
– Tufuna “ekisa” (2 Timosewo 2:1; Abaefeso 2:7);
– Tufuna “Omwoyo Omutukuvu” (Tito 3:5-6);
– Tufuka “abagezi” (1 Abakkolinso 4:10);
– Tufuka “abalamu era “n’etuberawo” (Abarumi 6:11; Abafiripi 1:21; 1 Yokana 4:9; Yokana 14:6);
– Katonda akolera mu ffe (Abaebbulaniya 13:21);
– “Tutukuzibwa” (1 Abakkolinso 1:2);
– Tufusibwa “abatukiridde” (Abakolisayi 1:28);
– Tuyinza okukola ebintu byonna (Abafiripi 4:13);
– Twefunira obuwanguzi (1 Abakkolinso 15:57);
– Tuwangula ekibi (2 Abakkolinso 2:14);
– Tusigala nga tuli besigwa (Abaefeso 1:1);
– Tuyinza “okukumibwa” mu butukuvu (Yuda 1);
– Tufuka abana era abasika ba Katonda (Abagalatiya 4:7);
– Tuyinza “okusanyuka” era “n’okwegulumiza” mu Katonda (Abarumi 5:11; 15:17);
– Tufuna omukisa ogw’Omwoyo” (Abaefeso 1:3);
– Tufuna “obuggaga” (2 Abakkolinso 8:9);
– Tuyinza “okutula mu bifo eby’omuggulu” (Abaefeso 2:6);
– Tuyinza okubona “obusungu” wa Katonda (Abarumi 5:9);
– Tujja kuzukizibwa singa tuffa nga Kurisito tanakomawo (Yokana 11:25);
– Tuzula “obulokozi” bwaffe era tujja “kulokolebwa” (2 Timosewo 2:10; Yokana 10:9, 3:17);
– Tufuna “obulamu obutagwawo” (2 Timosewo 1:1; Abarumi 6:23; 1 Yokana 5:11-12).

     Eno y’ensonga lwaki ESSUBI LYAFFE LYOKKA LISANGIBWA MU OBA OKUYITA MU MUKAMA WAFFE YESU KURISITO MWOKKA (1 Abaessolonoka 1:3), kubanga buli kintu kyonna kyonna ekirungi mu ffe kifuniwa okuyita mu ye (Felimoni 6)!


YESU KURISITO OLWAZZI LWAFFE

     Eby’awaggulu mubutabusabusa era mubufunze bikakasa lwaki omusingi gwe ekanisa ya Katonda ey’amazima lweyinza okusinzirwa ku Yesu Kurisito – olwazzi olugumu era olutaligwabwo (laba 1 Abakkolinso 10:4, 3:11; Zabuli 62:2, 18:2, 92:15; 2 Samwiri 22:32)!  Tewali kibina, ekibinja ky’eddini, ababule, abawereza oba omuntu, ekibinja ky’abantu, ekiyinza okukuwa ekimu ku bintu binno eby’amazima ebiri waggulu. Omuntu yekka ayinza okukuwa ebintu bino byonna mu mazima ye Yesu yekka si Petero, oba Papa, oba Budha, oba Krishna, oba Mohamadi, oba Maitreya, oba omuntu yenna omulala – okujjako Yesu Kurisito yekka!  Okuyita mu Kurisito lwe tuyinza okufuna byonna, n’etukakasibwa obulokozi era n’etufuka ekitundu ku kanisa ya Katonda ey’amazima.  Naye ebweru wa Kurisito tetulina kintu era nga tuli bwerere!
     Ate nga mukutegera kwa Baibuli ani era kiki ekikola ekanisa ya Katonda ey’amazima kituletera ffe okwebuza ebibuzo binno eby’ensonga: “Tuyinza kukokla ki nga kinomu okufuka ekitundu ku kanisa ya Katonda ey’amazima ku nsi era tusigala tutya ekitundu kyayo?  Era okuku??ana n’abakiriza abalala ab’amazima kya mugaso?”

          Okufuna eby’okuddamu mu Baibuli ku bibuzo eby’omugaso, kyalira Web site: www.TrueChurchofGod.info, oba wandikira: God’s True Church, PO Box 234, Merlin, Oregon, 97532 USA.


Wewandise mukubanguliwa okuyiga Baibuli EYOBWERERE, oba oyagala okumanya, ebisingako wandikira:

NAHATE JOEL
P.O. Box 268,
Tororo, Uganda, East Africa.
nahatesam@yahoo.co.uk