"LET THERE BE LIGHT" Ministries
home  |  Lugandan Tracts

OKUFFA  KUYINZA  OKUTISA?

     Waliwo enzikiriza nnyingi ezinkontagana ku nsonga yo kuffa era kufanana kutya okusuka emagombe, nti kifuka ekizibu okumanya nzikiriza ki entufu.  Naye Katonda teyaleka abantu be mu kibubalo ekyo kwebunya ku nsonga eno enkulu nga tabawadde kulaba mu maso ku amazima g’ekintu kinno.
     “Buli eky’awandikibwa kirina okulunghamya kwa Katonda, era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okuterezanga, olw’okubulira okuli mubutukirivu: omuntu wa Katonda alemanga okubulwanga kyonna kyonna, ng’alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.” 2 Timoseewo 3:16.

     Nga buli kyawandikibwa bwe kyalunghamizibwa Katonda, kati ku mpampula zinno entukuvu mwetuyinza okusanga omusingi ogw’amazima ogw’enjigiriza entufu, era olw’okunenya, n’okulongosamu, olw’okutereza mu munsobi zaffe, era kati ne tufuna amagezi og’obutukirivu amalongofu.  Kale kiki Katonda ky’ayogera ku kuffa okuyita mu kigambo kye?
     Okusoka mu byonna Okuffa ky’ekiki?  Bayubuli elaga emirundi ne mirundi nti okuffa kifananyiziwa n’okwebaka. Mubisera by’Nndagano Enkadde, omuntu bw’eyaffanga, kyalangirirwanga nti “y’ebase awamu ne bajjabe” (laba mu 1 Bassekabaka 2:10, 11:43, 14:20,31, 15:8,24).  Mubisera eby’Endagano Empya okuffa kw’afananyizibwa n’okwebaka (1 Abbakolinso 11:30, 15:20; 1 Abassesolonika 4:14).  Yesu naye ayogera buterevu ku kintu kinno nga ayogera ku kuffa kwa mukwano gwe Lazalo.  “Mukwano gwaffe Lazalo yeebase; naye nghenda okumuzukusa.  Awo abayigiriza ne bamugamba, nti Mukama waffe obanga yeebase, anamuzukusa.  Naye Yesu n’ayogera ku kuffa kwe: naye bo ne balowooza nti  ayogera ku kwebaka kwa tulo.  Awo Yesu n’alyoka ababulira lwatu, nti Lazalo afudde.” Yokana 11:11-14.
     Kale okuba nga ofudde kifanana n’okubera nga obwebase (laba ne mu Matayo 27:52; 1 Abbakolinso 15:51; Danyeri 12:2). Naye bwetuffa oba bwetugwa mukwebaka, kiki ekibawo? “Omukka gwe gumuvaamu, nadda mu ttaka lye; Ku lunaku olwo ebirobooze bye ne bibula.” Zabuli 146:4.
     Katonda ayogera nti bw’etuffa, tetuba na biroboozo oba ebiroboozo ebikola.  Tewaliyo kutegera mu ntana.  Kale Katonda alitulaga eby’amagero bye, ebyayita, ebiriwo, oba ebiriberawo magombe? Nedda.  “Olilaga abafu by’amagero?  Abaafu baligolokoka, balikutendereza?...Ekisa kyo kiribulirwa mu magombe?  N’obwesigwa bwo mu kuzikirira?  Eby’amagero byo birimanyirwa mu kizikiza?  N’obutukirivu bwo mu nsi ey’okwerabira?” Zabuli 88:10-12.
     Tujja kutendereza Mukama  mu magombe?  “Abafu tebatendereza Mukama, Newankubade abo bonna abakka mu kusirika.” Zabuli 115:17.
     Olowoboza tujjukira Mukama mu magombe?  Nedda. “Kubanga tewali akujjuukirira mu kuffa: Ani alikwebaliza mu magombe?” Zabuli 6:5.
     Olowoboza tulilabayo omuntu yenna nga tuli bafu?  Nedda. “Omutima gwange guntundugga, amanyi gange gampweddemu: Omusana ogw’amaso gange, era nagwo gumbuze.  Abanjagala ne mikwano gyange beewala ekibonoobono kyange; Ne baganda bange bayimirila wala.” Zabuli 38:10-11.
     Naye tetulaba abagalwa baffe nga bajja ku magombe gaffe okutwesinza olusembayo?  Nedda.  “Naye omuntu affa era ayongobera: wewaawo, omuntu ata omukka, kale ali ludda wa? Batabani be batuukamu kitibwa, ye nga takimanyi; Bakkakkanyizibwa, naye ye nga tategera bwe bali....”Yobu 14:10, 21.
     Kale abo abafa tebaliko kye bamanyi!  “Kubanga abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliko kye bamanyi, so nga tebakyalina empera; kubanga ekijjukizo kyabwe kyerabirwa.” Mubuulizi 9:5.
     Mazima, okuba ng’ofudde kyefananyiriza eyeebase — nga Yesu bwe y’ayogera.  Ate nga abamu bayigiriza nti mu kufa abamu bagenda buterevu mu ggulu.  Naye Katonda ayigiriza nti tugenda mu ggulu era ne tulaba Mukama waffe bwe tufa?  “...mwe ndigendera mu miryango gy’emagombe...N’ayogera nti siriraba Mukama, munsi yabalamu...” Isaaya 38:10-11.

     Abalala bayigiriza nti abenghanda zabwe abafa bali mu ggulu nga babatunulira  era nga babakolera obulungi okuyita mu ngeri ez’enjabulo.  Naye kinno e Bayibuli kyeyigiriza?  Nedda.  “Buli kintu omukono gwo kye gulaba okukola, okikolanga n’amanyi go; kubanga tewali mulimu  newankubadde okutesa, newankubadde okumanya, newankubadde amagezi mu magombe gy’ogenda.” Mubuulizi 9:10.
     Kiri kitya eri abo abakiriza nti mu butufu balabye oba bogeddeko n’abagalwa babwe abafa nga befananyiriza nga abazukidde mu bafu?  “Bw’atyo n’omuntu agalamira n’atayimuka: okutusa eggulu lwe litalibawo nate tebalizuukuka, so tebalizuukuzibwa mu tulo twabwe.” Yobu 14:12.

     Kati eri abo abakiriza mu oba abo abalabyeko emizimu oba emisambya zabo abafa nga babakabirira mu nyumba oba kubigya oba nga bayamba abantu?  “...naye abafu tebaliko kye bamanyi, so nga tebakyalina empera; kubanga ekijjkizo kyabwe kyerabirwa. Okwagala kwabwe kwenkana n’okukyawa n’obuggya bwabwe okuzikirira kakano: so nga tebalina mugabo enaku zonnamu byonna ebikolebwa wansi w’ejuba.” Mubuulizi 9:5-6.
     Kati abafu tebalina kutegera mu bulamu bwabwe bwonna. Tebasola kujjukira omuntu yenna oba ekintu kyonna ekirungi oba ekikyayibwa, ekyagalibwa oba ekibi mu bulamu bwabwe.  Olwokyo, singa baba bakomyewo ng’emizimu oba emisambya, tebasobola kujjukira ani gwe basobola okuyamba oba okukabirira!

     Ate abantu bangi balabye emizimu oba emisambya mu butufu era n’ebintu ebitisa eby’enjabulo.  Abalala babulidde amalobozi ag’atasobola kunyonyolwako era n’ebalaba ebikolwa ebitali bya buntu.  Naye kasita Bayibuli eyigiriza nti emizimu tegisobola okubera emisambya z’abantu baffe benyini abafa nga gizukizibwa mu bulamu, kati banni abayimirirawo olw’ebintu ebitisa?
     “Newaba olutalo mu ggulu: Mikaeri ne bamalayika be ne batabala okulwana n’ogusota; ogusota ne gulwana ne bamalayika baagwo; ne batayinza, so ne watalabika kifo kyabwe nate mu ggulu. N’ogusota ogunene ne gusuulibwa omusota ogw’edda oguyitibwa omulyolyomi era Satani omulimba we nsi zonna;  ne gusuulibwa ku nsi ne bamalayika bagwo ne basuulibwa nagwo....Kubanga gye mizimu gya baalubale, egikola obubonero; egigenda eri bakabaka b’ensi zonna...” Okubikkulirwa 1:7-9; 16:14.

     Kale waliwo emizimu oba emisambya leero, ate nga tewali n’ogumu ku gyinno egiba abafu nga bakomawo okuva mu magombe.  Gyinno gyiba abamalayika ababi oba balubaale b’omubi abagobebwa okuva mu ggulu.  Ebitonde binno ebibi biri kugezako okw’efananyiriza abafu abakomawo mu bulamu. Sikyansonga ani gwe befananyiriza — n’omutume Paulo eyafa oba abagoberezi ba Kurisito abalala.  Mu mazima, omufu omu watusa okumanyibwa, bwe bulungi okumwefananyiriza.
     Naye lwaki bamalayika banno ababi befanayiriza abafu era n’olulala bogera eri abo be balinako enkolagana nabo? Ekigendererwa kyabwe kyonna kiri okulimba abantu era bagezwko okubagamba nti obubaka bwe bababulidde ddala butufu nga ge mazima.  Naye oloboza omubi awamu na bamalayika be ababi bayinza okwogera amazima?  “ Mmwe...so teyanywerera mu mazima kubnga amazima tegali mu ye.  Bw’ayogera obulimba ayogera ebiva ku bibye; kubanga ye mulimba era kitabwe w’obulimba.” Yokana 8:44.
     Kale tetulina kukiriza obubaka bwonna obwesigamizibwa ku bitisa binno eby’enjabulo oba ebiyitibwa emizimu eza bafu kubunga butalimu naye bulimba!  Obulimba obukulu omulabe n’emizimu gye emibi byegigezeko okulaga nga ge mazima kwekukirizisa nti bwe tufa ememe zaffe zeyongera okuba emilamu. Obulimba bunno bumanyidwa nga obutafa w’omwoyo, era bangi kyebatekebwa mu okukikiriza nti mazima.  Naye omuntu alina obutafa?
     Bayibuli eyigriza nti abantu bonna “baffa”, tebalina obutaffa (laba Yobu 4:17; Abarumi 6:12).  Mubutufu, Katonda yekka “yalina obutaffa.” 1 Timoseewo 6:16.
     Kale eby’awandikibwa ebitukuvu byogera nti ku kuffa tetugenda okuberera abalamu emirembe gyonna.  Tetugenda mu ggulu oba mu Ggeyyeena bwetuffa, naye twebaka mu magombe. Yade tetufuka kintu kirara kyonna nga abanamawanga bwe bakiriza mu bulamu obutakoma obwetola — okweyongera okwezala bwetuba nga tuffude nate Mu kusasila kwa Katonda ayogera nti omuntu affa Omulundi gumu — nga simirundi mingi.
     “...Era ng’abantu bwe baterekerwa okuffa omulundi ogumu, oluvanyuma lw’okwo musango...” Abaebbulaniya 9:27.

     Naye ekibuzo ekinene ekisana okwebuzibwa kiri: Kiki ekiretera abantu okuffa mu kifo ekisoka?
     “Naye omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi togulyangako: kubanga olunaku lw’oligulyako torilema kuffa....Omukazi bwe yalaba ng’omuti mulungi okulya....nanoga kubibala byagwo ne balya....Mukama Katonda n’ayita omusajja n’amugamba nti Oli luyiwa?...Kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mwolidda. Oluberyeberye 2:16-17; 3:6, 9, 19.

     Kati okuffa ne kutandika ku amateeka ga Katonda oba ebiragiro bye lwe byajjemerwa era ne babimenya.  Naye kiki ekibawo kyennyini bwe tujjemera oba ne twonona amateeka ga Katonda?
     “Buli muntu yenna akola ekibi akola n’obujjeemu; era ekibi bwe bujjeemu.” 1 Yokana 3:4.

     Kati mu kumenya amateeka ga Katonda, twonona, era kiki ekibawo mu kulonda okukola ekibi.
     “Kubanga empeera y’ekibi kwe kuffa...” Abarumi 6:23.

     Ani ey’akola  era omutandisi bw’ekibi era n’okuffa?
     “Wali ng’otukiridde okuva mu makubo go okuva ku lunaku wewatonderwa okutysa obutali butukirivu lwe bwalabika mu bwe.” “Oyo okuva ku luberyeberye ye mussi...” Ezekeri 28:15; Yokana 8:44.

     Kale Katoda tayinza kunenyezewa olw’ekibi oba okuffa kubanga omulabe oba Setani oba Lusiffa ye mutandisi era ey’akola ekibi  n’okufa era yekka avunanyizibwa olw’okutya, obulumi, okubonabona okuletewa.  Era kasita ekibi ky’ayingira mu nsi n’ekibonerezo kyakyo eky’okuffa, abantu bagezezako okunonya okulaba ekubo okusobola okw’ewala okuffa era beyongere okuberabo, era Omulaabe ayizinza okutuwangula okutuyamba okukiriza n’obulimba bwe.
     Abangi bakiriza nti endoboza egamba nti ekibi kyokka kye kivako ekibonerezo ky’okuffa eri emibiri gyaffe, naye ememe gyaffe gyeyongera okuba emilamu emirembe gyonna.  Naye Bayibuli eyigiriza kino?
     “Emeeme eyononna y’erifa.” Ezekeri 18:20.

     Emeeme eyononna teba namu emirembe gyonna, naye effa! Era nga “bonna baayonoonna ne batatuka ku kitiibwa kya Katonda;” (Abarumi 3:23), olwono emeeme za bantu abafudde tebabelela okuba abalamu oluvanyuma lw’okuffa!Okukiriza nti twakolewa mu mibiri gy’anjabulo era n’emeeme z’anjabulo, bulimba bulala obw’enkukunala obuva eri Omulabe  n’emyeyo gye. Katonda atubulira ffe amazima nga bwe twatondewa.
     “Mukama Katonda n’abumba omuntu n’enfuufu y’ensi n’amufuuwamu mu nyindo omukka ogw’obulamu; omuntu n’afukka omukka omulamu.” Oluberyeberye 2:7.

     Katonda atubulira buterevu nti  omubiri bwogatamu omukka omulamu ofuna omwoyo omulamu (Yobu 33:4; Ezekeri 37:6). Kati omubiri ogutalimu mukka omulamu twegwenkana omubiri omulamu — naye omufu!  Kale temulimu mazima mu njigiriza egamba nti emmeeme eberela enamu emirembe gyonna oluvanyuma lw’okufa.  Yadde abantu tebalina mwoyo oguberelawo  nga mulamu oluvanyuma lw’okufa.
     Omukka gwaffe oguva ewa Katonda era negutukiriza okuba abalamu guyinza okukyusiwa mu byawandikiwa nga “Omwoyo” (laba Yobu 27:3).  Kati omubiri gatamu omukka oba omwoyo gw’obulamu tufuna emmeme enamu.  Naye omubiri ogutalimu mwoyo teguyinza kwenkana emeeme enamu.  Kale tewaliwo mazima mu nzikiriza nti mu kuffa, omyoyo gyeyongera okuba emilamu.  Wetuffa omukka gwaffe oba omwoyo gw’obulamu  guddayo eri Katonda eyagutuwa mu kuzalibwa (laba Mubuulizi 12:7; Zabuli 31:5), naye tewaliwo bulamu bw’anjabulo oba obutategera mu mukka gunno okusingako wetugusa.
     Olulyo lw’omuntu lulina kulaba okuffa nga telulina subbi ery’okubona kikoligo kyokuffa. Waliyo eyatuwonya okuva mu lulyo olutalina subbi?
     “Naye tutunuulira oyo eyakolewa okubulako akatono okuba nga bamalayika, ye Yesu, olw’okubonabona okw’okufa ng’assibwako engule ey’ekitibwa ne ttendo, olw’ekisa kya Katonda alyoke alege ku kuffa ku lwa buli muntu.  Kale kubanga abaana bagatta omusayi n’omubiri, era naye ye nnyini bw’atyo yagatta ebyo; olw’okufa akirizise oyo eyalina amanyi ag’okufa, ye Setani era alyoke ababwe eddembe abo bonna abali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw’entisa y’okuffa.” Abaebbulaniya 2:9, 14-15.

     Yesu mu kisa kye yatekawo ekubo eri abantu bonna abatalina subi okubanunula mu kuffa emirembe gyonna basobole okubera n’obulamu nate!
     “Kubanga Katonda bwe yayagala ensi n’okuwayo nawayo omwana we eyaazalibwa omu yekka, buli omuntu yenna  amukiriza aleme okubula naye abeere n’obulamu obutagwawo.” Yokana 3:16.

     “Kuba bonna nga bwe bafira mu Adamu era bwe batyo mu Kurisito bonna mwe balifukira abalamu.”  “Era okuteegeza kwe kuno nti Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu mwana we.  Alina omwana alina obulamu naye atalina mwana talina bulamu.” 1 Abakkolinso 15:22; 1 Yokana 5:11-12.

     Abantu bonna kati balina esubi nti waliyo obulamu oluvanyuma lw’okuffa — naye okuyita mu Yesu Kurisito yekka.  Tewaliyo muntu mulala: kabe Pulezidenti, oba Papa, Omubulizi oba Iguru, Shamani oba musosodoti ayinza okuwa obulamu obutagwawo mu mazima.  Obulamu oluvanyuma lw’okuffa busangiwa mu Yesu Kurisito yekka kubanga okuyita mu Yesu eyatuwa “obuyinza ku balina omubiri bonna era bonna be bamuwa, abawa obulamu obutaggwaawo” (laba Yokana 17:2).  Yesu Kurisito alabikila bonna — nabo abalowozewa okuba abawansi mu buntu oba mu kinya ky’ekibi.
     “Kale bwe tulina Kabona asinga obukulu atayinza kulumirwa wamu naffe mu bunaffu; naye eyakemebwa mu byonna bumu nga ffe, so nga ye talina kibi.  Kale tusembere n’obuvumu eri entebe ey’ekisa tulyoke tuweebwe okusasirwa, era tufune ekisa olw’okubeerwa bwe tukwetaaga.” Abaebbulaniya 4:15-16.

     “Ekigambo kyesigwa era kisana okukirizibwa kwonna nti Yesu Kurisito yajja munsi okulokola abalina ebibi; mu bo nze ow’oluberyeberye.” 1 Timosewo 1:15.

     Abantu bonna bayinza okubumula mu kusubira nti waliyo obulamu oluvanyuma lw’okuffa — naye okuyita mu Yesu mwokka. Tekyetagisa omuntu yenna okutya okuffa — okujjako nga aganyi okukiriza Yesu Kurisito ng’omulokozi era nga tamwekuteko.

     Laba nga tewaliwo budde bukuyitako nga togenze ku mavivigo okwenenya ebibi byo ng’osaba Yesu akusonyiwe era kati mwegayirire afuge obulamu wo.  “Leero bwe bulokozi wo” (Abakkolinso 6:2) — si nkya, kubanga enkya buyinza okuba nga buyise.
     Amazima g’okuba n’obulamu oluvanyuma lw’okuffa okuyita mu Kurisito mukisa n’okumatiza kwa manyi eri abo abakyali abalamu, naye eri abo abaffa edda?
     Abo abatuvako edda oba ababumula bajjakuzukiziwa badde mubulamu — nga mw’otwalidde abagana Kurisito?  Wandika oyige: Ekyo kuyiga ekidako ku nsoga enkulu ey’okuzukira ku kapapula kaffe akaddako eri.

Wewandise mukubanguliwa okuyiga Baibuli EYOBWERERE, oba oyagala okumanya, ebisingako wandikira:

NAHATE JOEL
P.O. Box 268,
Tororo, Uganda, East Africa.
nahatesam@yahoo.co.uk