"LET THERE BE LIGHT" Ministries
home  |  Lugandan Tracts

EBY’AMAZIMA  100  KU  BYEBUZIBWAKO  SSABBIITI

Lwaki okuma olunaku lwa Ssabbiiti?
Kiki ekirabikira mu Ssabbiiti?
Yakolewa ddi, ani ey’agikola, era yaani?
Lunaku ki olutufu okuba olwa Ssabbiiti?
Bangi bakuma olunaku olusoka mu wiiki, oba Sande.
Lukusa ki olwa Baibuli lwe balina olwa kinno?
Abamu bakuma olunaku olw’omusanvu, oba Satade.
Byabwandikibwa ki bye balina olwa kinno?


     Binno ge mazima ku nakku zinno zombi, nga bwezogerwako mu bulambilukufu bwe kigambo kya Katonda.

Eby’amazima nkaga ebikwata ku lunaku olw’omusanvu

1. Oluvannyuma lw’okukola enaku mukaga ezasoka mu weeki nga atonda ensi eno, Katonda n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu. Oluberyeberye 2:1-3.
2. Kinno kyakakasa nga olunaku lunno Katonda kwe yawummulirako lulwe, oba lunaku lwa Ssabbiiti, nga olunaku Ssabbiiti kitegeza olunaku olw’ekiwummulo.  Okulaga nga: singa omuntu aba azalidwa ku lunaku lwonna, olunaku olwo lufuka amazalibwage.  Kale ne Katonda yawummula ku lunaku olw’omusanvu, olunaku olwo ne lufuka Ekiwuumulo Kye, oba olunaku lwa Ssabbiiti.
3. N’olwokye olunaku olw’omusanvu lutekwa okuba nga lwe lunaku lwa Ssabbiiti ya Katonda.  Oyinza okukyusa olunaku lwe bwazalibwirako n’oluteka ku lulala lw’otazalibwirangako?  Nedda.  W’ekityo toyinza kukyusa olunaku Katonda lwe yawummulirako n’oluteka ku lunaku lw’atawummulirako.  Kale olunaku olw’omusanvu lusigala nga ye Ssabbiiti ya Katonda.
4. Omutonzi nawa omukisa olunaku olw’omusanvu. Oluberyeb. 2:3.
5. N’alutukuza olunaku olw’omusanvu. Okuva 20:11.
6. Katonda yalufula lunaku lwa Ssabbiiti mu lusuku lwa Adeni. Oluberyeberye 2:1-3.
7. Lwatekebwawo  nga  omuntu  tanagwa;  kale  telufanana n’ebyemikolo, ez’emikolo ezatekebwawo nga omuntu amaze okugwa.
8. Yesu ayogera nti Ssabbiiti yabawo ku lw’omuntu (Makko 2:27); n’ekiba nti, olulyo lw’omuntu nga ekigambo omuntu wanno tekiriko w’ekikoma, kale n’Abanamawanga era n’Abayudaya.
9. Lwo kijjukizo kya butonzi. Okuva 20:11; 31:17.  Buli kisera kyonna bwe tuwummula ku lunaku olw’omusanvu, nga Katonda bw’eyakola, tujjaganyiza ekintu kinno ekikulu.
10. Lwabwewa Adamu, omukulu wo lulyo lwa bantu. Makko 2:27; Oluberyeberye 2:1-3.
11. Kale okuyita muye nga omubaka, okutuka eri amawanga gonna. Bikolwa bya batume 17:26.
12. Simukola gwa kiyudaya, kuba yakolebwa emyaka 2300 nga tewanabawo Abayudaya.
13. Baibuli tegiyitangako nti Ssabbiiti ya Bayudaya naye “Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo.”  Abantu batekwa okwegendereza engeri gye baswaza mu ekiwummulo ky’olunaku lwa Katonda olutukuvu.
14. Obujjurirwa obulaga okukola kwa Ssabbiiti okuyita mu mirembe gyonna ejja bajja ffe. Oluberyeberye 2:1-3; 8:10, 12; 29:27-28, n’emilala.
15. Ssabbiiti yo kitundu kya mu Mateeka ga Katonda nga tebanafuna ga Saniyi. Okuva 16:4, 27-29.
16. Katonda ya gyiteka munda mumitima wa mateeka ge agafuga obulamu. Okuva 20:1-17.  Lwaki yagyiteka omwo ate nga tefanana amalala omwenda, bonna gebakiriza nti tegakyuka?
17. Ssabbiiti ey’olunaku olw’omusanvu yalagwirwa n’edobboozi lya Katonda omulamu. Eky’amateeka Olw’okubiri 4:12-13.
18. Katonda mwennyini yagabwandika n’omukono gwe. Okuva 31:18.
19. Katonda n’agakola ku jinja eryole, nga kiraga ekifananyi eky’obutasanyisizibwangako ddala. Eky’amateeka olw’okubiri 5:22.
20. Gakumiwa nga muwatukuvu mu Sanduku mu kifo ekisinga obutukuvu. Eky’amateeka olw’okubiri 10:1-5.
21. Katonda yaganira ddala okukola ku Ssabbiiti, era ne mubisera ebizibu. Okuva 34:21.
22. Katonda yazikiriza Abaisirayiri mu dungu olw’okubanga banyoma Ssabbiiti. Ezekeri 20:12-13.
23. Kekabonero ka Katonda ow’amaazima, mu kko tumutegera okumumanya okuva ku ba Katonda abalala. Ezekeri 20:20.
24. Katonda yasubuza nti Yerusalemi ejja kuberera singa Abayudaya bakuma Ssabbiiti. Yeremiya 17:24-25.
25. Yabatwala mu busibe e Babuloni olw’okumenya Ssabbiiti. Nekemiya 13:18.
26. Katonda yazikiriza Yerusalemi olw’okumenya Ssabbiiti. Yeremiya 7:27.
27. Katonda yalangirila omukisa ogw’enjabulo ku banamwabwanga olw’okujikuma. Isaaya 56:6-7.
28. Kinno mu bunabbi kitegeza bulambalamba obuyinza obw’ekikurisitayo. Laba Isaaya 56.
29. Katonda asubiza okuwa omukisa buli muntu yenna akuma Ssabbiiti. Isaaya 56:2.
30. Mukama ayagala ffe okugyiyita nga “ya mukisa”. Isaaya 58:13. Mwegendereze, abo abakisanyukira okugyiyita nti “Ssabbiiti enkadde eya bayudaya”, “ekikoligo eky’obusibe,” nebilala.
31. Oluvanyuma lwa Ssabbiiti entukunvu nga emaze okurinyirirwa “ebiro bingi,” ezzibwa bujja mu nakku ezisembayo. Isa. 58:12-13.
32. Abanabbi bonna abatukuvu bakuma olunaku olw’omusanvu.
33. Omwana wa Katonda bw’eyajja yakuma olunaku olw’omusanvu mu bulamu bwe bwonna. Lukka 4:16; Yokana 15:10.  Kati n’abagobere eky’okulabirako ekya Kitawe ku lunaku olw’okutonda. Tetujja kuba watufu nga tugoberera eky’okulabirako ekya Kitafe era N’omwana?
34. Olunaku olw’omusanvu lwe lunaku lwa Mukama. Laba Kubikulirwa 1:10; Makko 2:28; Isaaya 58:13; Okuva 20:10.
35. Yesu ye yali Mukama wa Ssabbiiti (Makko 2:28); amakulu nti, okugyagala era’okugikuma, nga omusajja wali mukama wo mukazi, okumwagala era n’okumubuddabudda. 1 Petero 3:6.
36. Ssabbiiti ey’akakasiwa nga yatekebwawo olw’okusasira okungi olw’obulungi bw’omuntu. Makko 2:23-28.
37. Mukiffo ky’okugyabwo Ssabbbiiti, n’obwegendereza yayigiriza nga bw’eyali esana okukumibwa. Matayo 12:1-13.
38. Mukama yayigiriza abayigirizwa nti tabasana kukolanga ku olunaku lwa Sabiiti okugyako “amateeka kyegakiriza”. Matayo 12:12.
39. Mukama yalagira abayigrizwa nti Ssabbiiti etekwa okusabirwa n’obwegendereza emyaka nga 30 oluvannyuma lw’okuzukira kwe. Matayo 24:20. (okuduka kwawe kwaliwo mu A.D 66).
40. Abakazi abamukirizanga n’ebagobrenga Yesu n’obwegendereza bakuma olunaku olw’omusanvu oluvannyuma lw’okuffa kwe. Lukka 23:56.
41. Emyaka asatu oluvannyuma lw’okuzukira kwa Kurisito, Omwoyo Omutukuvu alaga okugyiyita olunaku lwa Sasbbiiti. Ebikolwa bya batume 13:14.
42. Paulo, omutume eri Abanamawanga, yagyiyita “Olunaku lwa Ssabbiiti’mu A.D 45. Bikolwa bya batume 13:27. Paulo teyakimanya?  Oba tukiriza abasomesa abamulembe gunno, abakakasa nti yakoma okuba Ssabbiiti ku kuzukira kwa Kurisito?
43. Lukka, omukurisitayo eyabikulirwa mu byafayo, nga awandika mu A.D 62 agyiyita “olunaku lwa Ssabbiiti”. Bikolwa bya batume 13:44.
44. Abanamawanga abakyuka bagyiyita Ssabbiiti. Bikolwa bya batume 13:42.
45. Mu luku??ana olukulu olw’abakurisitayo, A.D 52 mu maso ga batume era n’enamungi wa bayigiriza, Yakobo aluyita olunaku lwa Ssabbiiti. Bikolwa bya batume 15:21.
46. Kyali kyabuzalirwanwa okutekangawo okusaba ku lunaku lunno. Bikolwa bya batume 16:13.
47. Paulo yasomanga ebyawandikibwa mu nku??ana z’abantu ku lunaku lunno. Bikolwa bya batume 17:2-3.
48. Yali mpisa ye okubuulira ku lunaku lwa Ssabbiiti. Bikolwa bya batume 17:2.
49. Ekitabo kya bikolwa bya batume kituwa emirundi kinana mwene nga akola enku??ana ku lunaku lwa Ssabbiiti. Laba Bikolwa bya batume 13:4, 44; 16:13; 17:2; 18:4, 11.
50. Tewaliwo obutategeregana wakati wa bakurisitayo na bayudaya ku lunaku lwa Ssabbiiti.  Kinno kikakasa nti abakurisitayo bakuma olunaku lwe lumu nga abayudaya bwe bakola.
51. Mu kwemulugunya kwonna ku Paulo, tebamulangako okumenya olunaku lwa Ssabbiiti.  Lwaki nedda singa yali talukuma?
52. Paulo mwennyini yalangirira nti yakumanga amateeka.  “Siyoononanga mu mateeka g’Abayudaya newankubadde ku yekalu newankubadde eri kayisaali”. Bikolwa bya Batume 25:8.  Kinno kyandibadde kitya singa teyakuma Ssabbiiti?
53. Ssabbiiti eyogerwako mu ndagano empya emirundi 59, era n’ekitiibwa kyayo, ng’erina omutwe gwe gumu n’oguli mu ndagano enkadde, “Olunaku lwa Ssabbiiti”.
54. Tewali kigambo wonna mu ndagano empya awakwata ku Ssabbiiti nga bwogera nti yakoma, yagiwawo, yakyusibwa, oba ekintu ekyefananyiriza bwe kityo.
55. Katonda tawangako muntu yenna lukusa okukolerako omulimu.  Omusomi, buyinza ki bwokozesa ku lunaku olw’omusanvu mu milimu eza bulijjo?
56. Tewali mukurisitayo ow’endagano empya, obanga tanaba kuzukira oba ng’amaze, eyakolako omulimu ku lunaku olw’omusanvu.  Funnako ekintu kyonna eky’engeri enno, era tujja kufuna okubusabusa.  Lwaki omukurisitayo obw’omurembe gunno okukola eky’enjabulo ku bakurisitayo aba Baibuli?
57. Tewali buwandike obulaga nti Katonda yajjawo omukisa ggwe oba obutukuvuwe ku lunaku olw’omusanvu.
58. Nga Ssabbiiti bweyakumiwanga mu Adeni nga omuntu tanagwa, bwe kityo bwegenda okukumibwa emirembe n’emirembe munsi empya oluvannyuma lw’okuziwa bujja. Isaaya 66:22-23.
59. Ssabbiiti ey’olunaku olw’omusanvu yali yamugaso ku mateeka ga Katonda, nga bwe kyava mu kamwe ke, era nga bweyawandikibwa n’omukono gwe ku mayinja ku Sinayi. (Laba Okuva 20).  Yesu bweyatandika omulimu gwe, yayogera buterevu nti teyajja kuzikiriza mateeka.  “Te muloboza nti najja okuzikiriza amateeka oba eby’abannabi”. Matayo 5:17.
60. Yesu yanenya bubi abafarisayo okuba abananfusi okwefaninyiriza okwagala Katonda, ate nga ekisera ky’ekimu bononna agamu ku mateeka ekumi n’obulombolombo wabwe. Mu ngeri yemu, okukuma olunaku olusoka (Sande) kwe kwononna amateeka ga Katonda, era kanno kekalombolombo ka bantu.

     Tumaze okubalaga ebyamazima 60 bulungi mu Bayibuli ebikwata ku lunaku olw’omusanvu. Onakola ki nabyo?

Eby’amazima Anna Ebikwata ku Olunaku Olusoka mu wiiki

1. Ekintu ekisoka ekyawandikibwa mu Baibuli gwe mulimu ogw’akolebwa ku Lunaku olusoka mu wiiki. Oluberyeberye 1:1-5.  Gunno gw’akolewa n’Omuntonzi mwennyini.  Oba Katonda yakola ensi ku lunaku olusoka, kiyinza okuba ekibi okukola omulimu ku Sande?
2. Katonda yalagira abantu okukola ku linaku olusoka mu wiiki. Okuva 20:8-11.  Kiba kibi okugondera Katonda?
3. Tewali n’omo ku bajajja ffe abalukumako.
4. Taweli n’omu ku banabbi abatukuvu abalukumako.
5. N’ekiragiro kya Katonda, abantu abatukuvu bakozesanga olunaku olusoka mu wiiki nga olunaku olwa bulijjo okukola okumala emyaka nga 4,000.
6. Katonda mwennyini aluyita olunaku “olw’okukola”. Ezekeri 46:1.
7. Katonda teyawummula ku lunaku lunno.
8. Teyaluwa mukisa.
9. Kurisito teyawummula ku lunaku lunno.
10. Yesu yali mubajji (Makko 6:3) era n’akolanga obusubuzibwe okutusa bwe yatusa emyaka 30 egy’obukulu.  Yakumanga Ssabbiiti era n’akolanga enaku mukaga mu wiiki, nga bonna bwebakiriza.  Kale yakola emirimu egyamanyi emilala ku Sande.
11. Abatume bakolelanga ku lunaku lunno ekisera kye kimu.
12. Abatume tebawummula ku lunaku lunno.
13. Kurisito taluwanga mukisa.
14. Teluwebwanga mukisa n’obuyinza bwona obw’eggulu.
15. Telutukuzibwanga.
16. Tewali teeka eryabwenga okulagira okulukuma; kale tekuba kwononna okulukolerako omulimu.  “Awatali mateeka, tewaliwo kwonona.” Abarumi 4:15 (1 Yokana 3:4).
17. Tewali mu ndagono empya awagana omulimu gwonna okukolewa ku Sande.
18. Tewali kubonerezewa okutekewawo okulwononna.
19. Teruliko mukisa ogusubiziwa olw’okulukuma.
20. Teruliko kigendererwa ekiwebwa lwaki kyetegisa okulukuma.  Kyandiyinziza okuba bwe kityo singa Mukama yayagala okulukuma?
21. Teyitibwangako Ssabbiiti ya bakurisitayo.
22. Teruyitibwangako okuba olunaku lwa Ssabbiiti.
23. Teruyitibwangako okuba olunaku lwa Mukama.
24. Teruyitibwangako olunaku olw’okuwummula.
25. Tewali mutwe mutukuvu ogulina okugyibwawe.  Kale lwaki tugyiyita olutukuvu?
26. Luyitibwa mu bumpi “olunaku olusoka mu wiiki.”
27. Yesu talwogerangako mungeri yonna – teyatwalako erinya lyayo mukamwake nga wetulaba mu ebyawandikibwa.
28. Ekigambo tekilabikako mu Bayibuli nakatono.
29. Yadde Katonda, Kurisito, yadde abasajja ababikulirwa, abali bogeddeko ekigambo nekimu okusemba Sande okubaolunaku olutukuvu.
30. Olunaku olusoka mu wiiki lwogerwako emirundi munana mu ndagano empya. Matayo 28:1; Makko 16:2, 9; Lukka 24:1; Yokana 20:1, 19; Bikolwa bya Batume 20:7; 1 Abakkolinso 16:2.
31. Mukaga ku binno bilaga olunaku olusoka mu wiiki nga lwelumu.
32. Paulo yalagira abatukuvu okutunuliranga ensonga zawe ezomunsi ku lunaku olusoka. 1 Abakkolinso 16:2.
33. Mu ndagano empya erimu obuwandike obulaga nga olukungana olweddini lumu lwatulako ku lunaku olusoka. Bikolwa bya Batume 20:5-12.
34. Tewaliwo kulowoza kwonna nti olukunghana lwatulako ku lunaku lunno nga lunno terunabawo oba oluvanyuma.
35. Tekyali kya bulombolombo okukunghana ku lunaku lunno olusoka.
36. Tewaliwo ekyetagisa okumenyanga emigati ku lunaku lunno olusoka.
37. Tulinawo omulundi ggumu lwe kyakolebwa. Bikolwa bya Batume 20:7.
38. Kinno kyakolewa mukkiro – oluvanyuma lwekiro mutumbi. Enyiriri 7-11.  Yesu yalujjukira ku lwegulo lw’okutona (Thursday - Lukka 22), era abatumw bakikolanga buli lunakuemirundi emilala.  Bikolwa bya Batume 2:42-46.
39. Tewaliwo wonna mu Bayibuli awagamba nti olunaku olusoka mu wiiki lwakujjukira amazukira ga Yesu.  Bunno bulombolombo wa bantu, ekimenya amateeka ga Katonda. Matayo 15:1-9.  Okubatizibwa kwe tujjukirira amazukira era n’okuzikibwa kwa Yesu. Abarumi 6:3-5.
40. Ekyenkomerero, endagano empya awamu yonna telina kyeyogera ku ekikwata ku kyusa olunaku olw’omusanvu nga Ssabbiiti y’olunaku lwa Katonda oba obutukuvu obuwebwa Sande – olunaku olusoka.

     Kati oluvannyuma lw’okufuna eby’amazima 100 mu Baibuli ku byebuzibwa, nga tulaga mubumalirivu nti olunaku olw’omusanvu mu wiiki, oba Satade, ye Ssabbiiti ya Mukama mu ndagano enkadde n’empya, kiiki ekinaba eky’okudamu eri eteeka linno elya Katonda?
     “Kubanga waliwo w’ayogerera ku lunaku olw’omusanvu bw’ati, nti katonda nawummulira ku lunaku olw’omusanvu mu mirimu gye gyonna....Kale wasigaddeyo ekiwummulo kya Ssabbiiti eri abantu ba Katonda. Kubanga ayingidde mu kiwummulo kye, nga Katonda bwe yawummula mu gigye. Kale tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, omuntu yenna aleme okugwa mu ngeri eyo ey’obutagonda.” Abaebbulaniya 4:4, 9-11.

     “Era ku kino kwe tutegeerera nti tumutegedde (Katonda) bwe tukwata ebiragiro bye.  Ayogera nti mmutegedde, n’atakwata biragiro bye, ye mulimba nga n’amaazima tegali oyo; naye buli akwata ekigambo kye, maazima okwagala kwa Katonda kumaze okutuukirizibwa mu oyo: Ku kino kwe tutegeerera nga tuli mu ye....Ku ekyo kwe tutegeerera nga twagala abaana ba Katonda, bwe twagala Katonda tukola ebiragiro bye. Kubanga kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa”.  1 Yokana 2:3-5; 5:2-3.

     “Baweeredwa omukisa abayoza ebyambalo byabwe, balyoke babeere n’obuyinza ku muti ogw’obulamu, era balyoke bayingire mu kibuga nga bayita mu miryango.  Ebweru ye eri embwa, n’abalogo, n’abenzi, abassi, n’abansinza ebifaananyi, na buli ayagala nakola obulimba.” Kubbikulirwa 22:14.

     “Ekigambo ekyo we kikoma wano; byonna biwuliddwa; otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu.  Kubanga Katonda alisala omusango gwa buli mulimu, wamu na buli kigambo ekyakwekewa, oba nga kirungi oba nga kibi.” Omubuulizi 12:13-14.


Wewandise mukubanguliwa okuyiga Baibuli EYOBWERERE, oba oyagala okumanya, ebisingako wandikira:

NAHATE JOEL
P.O. Box 268,
Tororo, Uganda, East Africa.
nahatesam@yahoo.co.uk