"LET THERE BE LIGHT" Ministries
home  |  Lugandan Tracts

AMAZIMA  AGAKWATA  KU  MULIRO  OGULIZIKIRIZA

     Wabadewo okulangirira ne Papa nti enjigiriza eyo muliro gw’okuzikiriza ebulirwe n’amanyi mangi ne kanisa nga ekinayamba okuziyiza ekibade kiretera obunamungi bw’omuntu okuva ku Katonda.
     Papa y’anyonyola nti nga bwe kyakirizibwa nti esubi ely’okugenda mu ggulu ku lunaku lw’okuffa eligya okutwaliwa nga ekikulu ekisokerwako mu ndoboza ey’okuwereza Katonda, telikyatwaliwa nga kikulu nga bwe kyasubirwa, era kati ekisigaalide kwe kutandika okubulira ku omuliro ogulizikiriza, nti okuyita mu kutya olw’ebibonyonyo eby’ekitalo ebiribatukako, abantu basobola okukumiwa obulungi ennyo mu kanisa.
     Obutekwasa kyonna Papa ky’eyalangirira ky’ekijja okukola ku ndoboza y’abantu oba abakatuliki okusinga ennyo, kya mugaso nti abantu bonna abaloboza bagezeko okufumitiriza, obanga kisoboka amazima ag’omuliro ogulikuzikiriza kye gugamba.  Ekirobozo eky’okubonyabonyezebwa emirembe n’emirembe n’ababi mubutufu kiyigirizibwa mu Bayibuli? Singa nedda; wa gye kyava? Lekka twekalirize ensonga zinno mu bumpi era tulabe kye tunasanga.
     Ekigambo kyenyini ekyomuliro ogulizikiriza (hell) kiva mu Anglo-Saxon, era nga tekinakozesebwa mu kikyusa eky’olungereza olwe Bayibuli, kyali kitegeza mu bumpi okubikiwako oba embera eyokukweka.  Eky’okulabilako, ekikolwa eky’okuzikanga lumonde  wansi mutaaka okumukumirayo okuyita mu butiti kw’ayitiwanga “okuzikiriza” lumonde.  Bakyagoberela obuwangwa bunno mu Bungereza nga bazika lumonde bwawe. Okuteka esubi ku kasolya k’enyumba ky’ayitiwanga “okuzikiriza” enyumba, naye tekyategezanga okuteka omuliro ku nyumba.
     Mu Ndagano Enkadde waliyo ekigambo kimu ekyakyusiwa okuzikiriza (hell) mu ebikka bya Bayubuli zaffe zinno eza bulijo mu Lungereza.  Ekigambo kino kiri sheol.  Ekigambo kinno kilabika mu ndagano enkadde emirundi nkaga mutano.  Ekigambo (hell) okuzikiriza kikyusibwa emirundi asatu mugumu era n’ekinya emirundi esatu.  Mubutufu okukyusiwa kwakyo; kwongede kubutategerekeka okuliwo mu ndoboza y’obuntu mukutegera embera ey’abafa olw’okukyusiwakyusiwa kwakyo.
     Mazima, abakyusa e Bayibuli zinno ezaffe eza bulijjo tebali Bakatuliki, naye baliwo mubisera endoboza ey’okuyigiriza okwo awa Papa okukwata ku muliro ogulizikiriza era n’okubula emirembe gyonna lwe kwaliwo nga kukiriziwa, era ne mu Baporotesitanti, era mubuntu kinno kyakosa omulimu gwawe mukika ekya wagulu. Okuva amakulu genyini ag’ekigambo omuliro ogulizikiriziza (hell), agategeza okubikako oba okuziyiza tegali ag’enjabulo nnyo okuva ku kya magombe (sheol), oba ag’ekinya, olwono mpozi abakyusa Bayibuli bakitwala bw’ebatyo era n’ekibanguyila mu ndoboza yabwe okukozesa omuliro ogulizikiriza (hell) nga bakyusa ekigambo (amagombe) sheol.
     Naye bakisanga nga kizibu okukozesa ekigambo omuliro ogulizikirza (hell) mu buli mbera nga ekikyusa eky’olwebulaniya ekya sheol (amagombe), okukikola kino kiba kiteka abamu ku baddu ba Katonda abesigwa abogerwako mu Bayibuli mu bifo ebyokubonabona, olwono baba betaddeyo okudda mu muliro ogulizikiriza mu magombe kitukane n’ekigendererwa kyabwe obulungi.

     Eky’okulabirako, mu kitundu ekisoka ekigambo sheol (amagombe) kilabika mu Ndagano Enkadde nga kikozesebwa ne jajja ffe Yakobo omulungi.  Asanyisiza mutabani we omwagalwa Yusufu obanga yatibwa ensolo enkambwe ez’omunsiko era eyali aboneredde nnyo mu mutima olwo kufirwa  kunno okwamanyi.  Nga akaba y’ayogera, “ndikka emagombe (sheol) awali omwana wange nga nkyakaaba”. (Oluberyeberye 37:35).  Mu bigambo binno abakyusa bateddewo ekigambo “amagombe” awatali ekyo, bandibadde kilaga nti Yakobo y’akiriza nti Yusufu ali mu muliro ogw’okuzikirira (hell) era nti yasubira okugenda eyo naye oluvanyuma olw’okufa.  N’okunyonyola kwa Papa okutegeza okubonabona okwatekewa ku kigambo (amagombe) sheol, kinno kyandibade kya njabulo eri abasomi abasinga obungi okukyikiriza.
     Nabbi Yobu asaba okugenda mu (magombe) sheol, naye mu kukyusa okusaba kuno abakyusa batuwa ekigambo “amagombe” (Yobu 14:13).  Yobu yali ayita mubuzibu bungi era n’okubonabona okwamanyi. Kyali kituse ku mbera gye yali tasobola kuguminkiriza, kati ng’asaba Katonda okumukiriza okugenda mu sheol  (mu magombe) gy’eyali amanyi nti ajja kutuka mu kubumula. (Yobu 3:17-19).  Singa abakyusa batuwa ekigambo omuliro ogulizikiriza (hell) mu kifo kinno, abasomi be Bayibuli bandiyigiriza nti ekigambo kinno mu Bayibuli sikifo kyakubonabona, naye embera ey’obutategera mu ndoboza — banditegedde nti Yobu teyasaba kugenda mu kifo eky’okubonabona gye kwandiyongezedwako, era kwongezeweko emirembe n’emirembe.
     Nabbi omulala owe Ndagano Enkadde anyonyola sheol (amagombe) mu bigambo ebitabusabusiwa, ng’agamba, “buli omukono gwo kye gulaba okukola, okikolanga n’amaanyi go; kubanga tewali mulimu newankubade okuteesa newankubade okumanya amagezi mu magombe (sheol) gy’ogenda.” (Mubulizi 9:10).  Nga kyamuwendo okubikula amazima mu kyawandikiwa kinno singa abakyusa wanno batuwa ekigambo omuliro ogulizikiriza (hell) mu kifo ky’okutuwa sheol ekigambo ekya magombe, nga bwebakola!
     Ekintu kiri nti sheol (amagombe) gwe muliro ogulizikiriza (hell) ogw’omu Ndagano Enkadde — omuliro ogulizikiriza (hell) gwokka abantu ba Katonda gwe babagambako mubisera by’emyaka 4,000.  Era ekifo kinno kyali kifanana kitya?  Kyali ekifo ekyakasikiriro era n’okubumula, embera ey’obutategera mu ndoboza, kye bali bayigirizidwa banabbi, gye bagendanga bonna abatukirivi era n’ababi bwe bafa eyo ne balindirira ekisera, olwamanyi g’Omutonzi, bayinza okudizibwa obulamu mu kuzukizibwa.

     Ekitufu ku bikwata ku muliro ogulizikiriza (hell) nga bwe bakibikula mu Ndagano Empya bikwatagana bulungi ne bili mu Ndagano Enkadde.  Endagono Empya ya wandikibwa mu luyonani era wanno ekigambo eky’oluyonani hades (amagombe) kikwatagana n’okyolwebulaniya sheol (amagombe) eky’omu Ndagano Empya.  Tutegera kinno okuva kukitufu ky’omutume Petero, mu kubulira kwe ku lunaku lwa Pentakonte yajjayo okuva mu Ndagano Enkadde mu ekyo ekigambo sheol (amagombe) gyekilabikamu era mukukola kinno yakyusa ekigambo sheol (amagombe) okutegeze ekigambo ky’oluyonani hades (amagombe).
     Ekyawandikiwa  Petero kyajjayo ku mulundi gunno ky’ekiri mu Zabuli 16:10.  Bunno bunabbi bwa kuffa era n’okuzukira kwa Yesu, ng’alangirira nti obulamu wa Yesu tebujja kulekewa mu magombe (sheol).  Okusoka mu byonna kinno kikakasa nti Yesu yagenda magombe (sheol) ag’omu Ndagano Enkadde bwe yaffa: era kikakasa nate nti amagombe (hades) ag’omu Ndagano Enkadde ge gamu n’agomu Ndagano Empya.  Emirundi ebiri abakyusa bakozesa ekigambo omuliro ogulizikiriza (hell).
     Wanno batwalibwa mu butamanya, kale singa wanno bakozesa ekigambo amagombe (sheol) baba bateka obulamu wa Yesu mu magombe(hades), ekyandibadde ekitufu, naye kinno tekyandikwataganye ne kya Papa eky’enjigiriza ekwata ku obutafa obw’omwoyo.
     Tutekwa kuba basanyufu nti Kurisito yagenda mu magombe (hell) ago mu Bayibuli bwe yafa, olwono natekawo okulokolewa eri abo abali eyo.  Mu kubikulirwa 1:18 Yesu mwenyini ayogera abikwata ku kinno nga agamba nti, “nze nnali nfudde era kati ndi mulamu; ndi mulamu emirembe n’emirembe....era ndina ebisumulozo eby’emagombe (hell) era n’obyokufa”.
     Okukozesa ekigambo ekisumuluzo n’engeri Yesu jatukakasamu nti ajja kugulawo ekomera eddene eryo nnyumba ey’okufa era asumulure abawambe.
     Kinno kikwatagana n’okukozesa ebigambo (hell) ebibiri ebisembayo mu Bayibuli — ebiri mu Kubikulirwa 20:13-14.  Wano Yokana atugamba nti amagombe (hell) galireta abafu abago; era oluvanyuma, galizikiriziwa.  Akabonero akakozesewa okulaga okuzikiriziwa kwa magombe (hell) kuli enyanja ey’omuliro.  Wanno kisubizibwa nti “enyanja ey’omuliro” ge magombe (hell) ga Bayibuli, naye nga sikyekyo.
     Yokana atugamba nti kwe kuffa okw’okubiri, era nti mukwo okuffa na magombe gajja kuzikirizibwa.  Omuliro ky’ekintu ekikyasinga okuzikiriza nga kimanyidwa abasayansi, era mukama akikozesa mu kigambo kye okureta ekifanayi eky’okuzikirira.
     Waliwo ekigambo ekirala mu Luyonani mu Ndagano Empya ekyakyusiwa nga omuliro ogulizikiriza (hell) era kye kinno Gehenna.  Lino ly’erinya elyabwewa ekibonvu ekiwanvu ennyo wabweru wa Yerusalemi eky’akozesewanga okutekamu ebisasiro era n’ebiriwa by’ekibuga.  Omuliro gwakumiwanga okwaka mukiwonvu (Ggeyyeena) kinno okuzikiriza kyonna eky’asuliwangamu.
     Olw’okuba embera ey’akwatagananga ne kiwonvu (Geyyeena), era kubanga Yesu yamanya nti abantu abo munaku ze bajja kutegera amakulu, y’akikozesa nga akabonero ak’okuzikirira.  Tewali n’omu eyabonyabonyezewa mu Ggeyyeena (mukibwonvu) — kikozesewa olw’okunyonyola okuzikiriziwa.  Mu butufu abayudaya baganiwanga okukozesa okubonyabonya okw’engeri yonna, yadde okw’ekisolo.

     Yesu okukozesa ekibonvu kya (Ggeyyeena) kyali kyamugaso okulaga okuzikiriziwa, kilabikira mu kyeyayogera, “So temubatyanga abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta bulamu: naye mumutyenga ayinza okuzikiriza obulamu n’omubiri mu Ggeyyeena.” (Matayo 10:28).  Abakyusa bakozesa ekigambo amagombe (hell) wanno nga ekyakyusibwa okuva mu Geyyeena(ekiwonvu), era kati kyebunyisa okulaba nti omusomi wa Bayibuli tebanaba kwetegereza nti ekyo kifo kyakuziriza, ngasikifo kyakubonyabonyezewa.
     Awalala Ggeyyeena, Yesu yeyongera okuwa ekifananyi eky’okuzikiriza nga akozesa obubuka obuyingira mu milambo gy’ebintu ebiba bifude.  Nga ayogera ku kusikiriziwa okuyitiride okujja okutuka mu bulamu obukurisitayo okubajja ku Mukama, nga kiyimirirawo mu bintu binno ebitenderezewa nga omukono era n’amaso, y’ayogera nti kyandibade kirungi okutemewako omukono oba okujjiwamu eriso okusinga okusiliwa mu Ggeyyeena, eri obubuka gy’ebutafa era n’omuliro gye gutazikira. Matayo 5:29, 30; 18:8, 9.
     Nga bwetulabye, omuliro gw’akumibwanga okweyongera okwakaka mu Ggeyyeena (ekiwonvu) kisoboseze byonna ebyasuliwangamu mu kiwonvu okuzikirira.  Mumbera enno kazambi yenna ey’asulibwanga mukiwonvu nga tatuseko muliro naye nga yekute ku mabali y’andizikirizibwa n’obubuka.  Kati okuyita mu by’okulabilako binno, Yesu y’akakasa okuyigiriza kwa Bayibuli okwabona, nti empera yekibi kwe kuffa, sikubonyabonyezewa.
     Ebyawandikibwa biyigiriza nti “emmeeme eyonoona ye erifa” (Ezekeri 18:20), sosi kubonyabonyezewa emirembe gyonna.Kale mu kutuyigiriza nti empera y’ekibi kwe kuffa, omutume Paulo naye alangirira nti “naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kurisito Yesu Mukama waffe.” (Abaruumi 6:23).  Kale nate esubi ery’okuzukira okuva mu baffu eri bonna abaliba balokoledwa ne Kurisito.

     Kiki ekilala Bayibuli kyeyogera ekikwata ku kuffa?
1.  Abantu bajja batya ku nsi wanno?  Katonda n’abumba omuntu munfunfu ey’ensi. Olubeeryeberye 2:7.
2.  Mu ngeri ki Bayibuli gye nyonyolamu ku abaffa?  Bonna Abebakka. 1 Abasessalonika 4:13.
3.  Era wa abaffa gye bebaka?  Mu nfufu yensi. Danyeri 12:2. Bonna ba nfufu. Mubulizi 3:20.
4.  Kiki ekiberawo ku muntu bw’affa?  Enfufu n’edda mu ttaka nga bwe yali...omwoyo ne gudda eri Katonda eyagugaba. Bonna bagenda mukifo kimu era bonna bava mu nfuufu  nate. Mubulizi 12:7; 3:20.
5.  Mwoyo ki gunno ogudda eri Katonda?  Kuba omwoyo awatali mubiri nga mufu.  Yakobo 2:26.  N’omwoyo gwa Katonda guli mu nnyindo zange. Yobu 27:3.  N’olwekyo okuwera era n’omwoyo kyekimu.
6.  Omwoyo kyeki kati?  Mukama n’abumba omuntu munfufu...era n’amufubwamu omukka omulamu munyindo; omuntu n’afukka omulamu. Olubeeryeberye 2:7.  N’olwekyo omubiri(enfufu) gatako omukka omulamu (omwoyo) = Omuntu omulamu.
7.  Omwoyo guyinza okuffa?  Emmeeme ey’onoona ye erifa. Ezekeri 18:20.  Bonna bayonoona. Abarumi 3:23.
8.  Waliwo omuntu yenna atalina obutaffa?  1 Timoseewo 6:16 w’atugamba nti Katonda yekka y’alina obutaffa.
9.  Kale omuntu yenna affa aliko ky’amanyi?  Abaffu tebaliko kye bamanyi. Mubulizi 9:5.
10.  Abafu bayinza okutendereza Katonda?  Abafu tebatendereza Mukama. Zabuli 115:17.
11.  Tuyinza tutya okutegera ku Katonda oluvanyuma lwo kuffa? Kubanga tewali akujjuukira mu kuffa. Zabuli 6:5.
12.  Tuyinza okukola oba okuyiga oluvanyuma lwo kuffa?  Tewali mulimu...yadde okumanya,oba amagezi mu magombe. Mubulizi 9:10.
13.  Naye abatukirivu tebagenda butervu mu ggulu?  Daudi tanagenda mu ggulu. Bikolwa bya batume 2:34.
14.  Ddi Daudu lwe y’ayogera nti ajja ku kusibwa?  Ndimatira bwe ndizuukuka n’ekifananyi kyo. Zabuli 17:15.  N’abafu balizuukizibwa mu butavunda, naffe tulifuusibwa. 1 Abakkolinso 15:52.
15.  Kulwani lwe tugenda okununuliwa okuva mu magombe?  Ku lw’omuntu okufa kwajja....era bwe kityo mu Kuiristo bonna mwe balifukira abalamu. 1 Abakkolinso 15:20, 21.
16.  Ddi ebibina ebibiri eby’enjabulo lw’ebirizukizibwa?  Wajja kubawo okuzukira kwa bafu; abalungi era n’ababi. Ebikolwa by’abatume 24:15.
17.  Okuzukira kwa abalungi kuliberawo ddi?  Kubanga Mukama waffe y’ennyini alikka...n’abo abaafira  mu Kurisito be balisoka okuzuukira. 1 Abasessalonika 4:16.
18.  OKuzuukira kw’ababi kuleberawo ddi?  Era (abatukirivu ) balifugira wamu ne Kurisito emyakka 1000.  Naye abamu ku bafu tebaliba balamu okumala emyaka 1000. Kubikkulirwa 20:4, 5.
19.  Abatukirivu baliba balamu okumala kisera ki?  Tewaliba kufa n’akatono: kubanga  benkana bamalayika; era bana ba Katonda ab’omukuzuukira. Luuka 20:36.  Tewajja kuba kufa. Kubikulirwa 21:4.
20.  Ejinja ery’okusonda mu wakabaka wa satani bubadde bulimba “temulifa”.  Bunno bwebulimba bwe yabulira Kawa mu Adeni, abadde abulira abana b’abantu ekisera kyonna.  Era okuyita mubisera byonna Satani akoze eby’amagero bingi ng’ayita mu bantu abagamba nti bafuna okuva mu bafu. Abalogo be Misiri(Okuva 7:11) obulogo w’endori (1 Samwiri 28); abalogo (Danyeri 2:2) omuwala ey’alagulanga (Bikolwa bya Batume 16:16-18). Satani akola n’amanyi leero okuyita mu bakulembeze ba maddini okulimba abakoye ng’agamba nti abafu tebaba bafu naye balamu bayinza n’okwogera na balamu.
21. Katonda yagamba ki ku abo abayigiriza nti abafu baba balamu?  Era omusaja...oba  omukazi...asamira omizimu oba omulogo talemnga kutiwa. Baleevi 20:27.
22.  Satani ayinza okukola ebyamagero?  Kubanga gy’emizimu gy’abalubale egikola eby’amagero. Kubikulirwa 16:14.
23. Abantu ba Katonda b’ayinza batya okwewala okulimbiwa?  Bakiriza ekigambo n’omwoyo omwangu ennyo, buli lunaku nga banoonya mu byawandikibwa oba nga ebyo bwe biri bwe bityo. Bikolwa bya Batume 17:11.  Tudde eri amaateka n’obujulirwa, oba nga tebogera ng’ekigambo ekyo bwekiri mazima obudde tebugenda ku bakerera. Isaaya 8:20.

Wewandise mukubanguliwa okuyiga Baibuli EYOBWERERE, oba oyagala okumanya, ebisingako wandikira:
NAHATE JOEL
P.O. Box 268,
Tororo, Uganda, East Africa.
nahatesam@yahoo.co.uk