"LET THERE BE LIGHT" Ministries
home  |  Lugandan Booklets

OLUKIIKO  LWA  MAKANISA  AG’ENSI  YONNA  ne  KANISA  YA  SEVENTH-DAY  ADVENTIST


Okukafulumya okwasooka, 1996

Olukusa © 1996 luva eri

“LET THERE BE LIGHT” MINISTRIES (rs)
PO BOX 1776
Albany, OR 97321
U.S.A.
www.LightMinistries.com


     Obwananyini Bwonna Bukumiddwa.  Olukusa lukuweebwa okuddamu okukuba akatabo kano, singa kakubibwa oba okwokebwa mu bujjuvu bwako awatali kukyusaamu oba kukubira.

     Olw’obutabo obulala, ate era nokufuna olukalala olujjuvu olw’obubaka obuliwo, wandikira:


BOOKLETS
PO BOX 1776
ALBANY, OR 97321
U.S.A.





OLUKIIKO  LWA  MAKANISA  AG’ENSI  YONNA  NE KANISA  YA  SEVENTH-DAY  ADVENTIST

     Olukiiko lwa makanisa ag’ensi yonna (WCC) lwatandiikira mu Amsterdam, mu Holland, nga August 23, 1948.  Lukolebwa ebibinja ebyenjawulo ebifugibwa WCC.  Ekigenderewa kya WCC kwekugata amadiini ag’ensi yonna mu kibiina tabamiruka ekigatta amakanisa ne nzikiriza zonna oba ekanisa yensi emu.  Naye okusobola okugatta amadiini gonna awamu, enjigiriza e’zenjawulo engaanzi mu makanisa gano, ziteekwa okukanyizibwako olwekigendererwa ekimu, era okutunulira enzikiriza ezo mubumu tewateekwa kuba kyekubiira.
     Ekimu ku matabi ga WCC lwe lukiiko lwa makanisa ag’egwanga (NCC).  Ate era mu nteekateeka ya WCC mulimu obutabi obutonotono gamba nga obubiina obuwereza abantu ab’enjawulo (laba Collectivism in the Churches, Olup. 60, akawaandiikibwa Edgar C. Bundy).
     Olukiiko lwa makanisa ag’ensi yonna okusooka lwayitibwanga Olukiiko Federo olwa’makanisa olwateekebwateekebwa mu December, 1908.  Ate nerukyusa erinya lyalwo okuyitibwa NCC mu 1950.  NCC lukolebwa amakanisa agali mumawanga amagate ag’America agakiriza okufuuka ga memba n’okuteeka munkola ebigendererwa bya NCC oba WCC.
     Ekigendererwa kya NCC kyekigendererwa ddala ekya WCC okuva nga bwe kyali obukulembeze obwa Federo olw’amakanisa olw’egwanga olwakola WCC 1948 (laba World Council of Churches: Religion or Revolution, akawandiikibwa Hugh Moreton ne N.W. Hutchings, olup. 3).  Ekigendererwa kyaabwe kisuka kukugata obugasi amakanisa mu emu, nekizingiramu ebigendererwa by’obukatuliki, oba Catholicism, The New Age, Free Masonary, The Illuminati, The United Nations n’ebibiina ebirala eby’obwasetani oba ekigendererwa eky’enteekateeka empya nga setani ye katonda era omukulembeze.

     Eri abamu kino kiyinza okuba ekizibu okukkiriza, naye NCC yo egamba bweti mu nsonga z’esemba okugoberera okusobola okuleeta emirembe gy’ensi:
     “...Gavumenti y’ensi yonna...okukugira okwamaanyi kubuyinza bwe gwanga.  Okufuga amagye gensi yonna n’ebyokulwanyisa byayo.  Enkola emu ey’ensimbi.  Eddembe lyensi yonna ery’okutambula.  Okukulakulanya okumalawo emisolo n’amateeka agakugira obusubuzi bw’ensi yonna efugibwa obwenkanya.”  Bank y’ensi yonna efugibwa obwekanya.
     “Enteekateeka empya ey’obulamu bwebyenfuna kikulu ate kyetagiisa mbagirawo okuyita mu bwegafu obwanakyewa obuli mu nkola ey’obwenkanya oba okuyita munkyukakyuka engazi ey’ebyobufuzi.”  Time Magazine, March 16, 1942, pg 44-48.

     WCC na’matabi gaalwo mu mazima ddala mu kawefube okutukiriza kino “Enkyukankyuka sinzigu mubyebufuzi” munsi ezitagoberera nteekateeka ey’ekanisa emu ey’ensi yonna n’enteekateeka empya ey’ensi yonna.  Bino byakulabirako ebitonotono ebya kino:
     WCC yawa ensimbi eza doola 85,000 eri ekibiina ky’egwanga ly’omu Africa ekituuju ekiyiitibwa PATRIOTIC FRONT abaali balwana olutalo olwe’kiyekera mu Rhodesia/Zimbabwe mu 1978 (laba Seattle Times, August 25, 1981).  Abatujju bano batta abantu abasukka mu 1900, nga mwo’twalidde aba minsani abangereza 8 nabaana baabwe bana mu Zimbabwe mu mwake ogwo (laba Readers Digest, August, 1982).  Mu 1974 WCC lwawa ensimbi eza pounda 6,355 ab’ekibiina ekya batuuju -ZANU- mu Africa abavunanyiizibwa okutta abantu babulijjo aba Rhodesia/Zimbabwe 87 (laba WCC: Religion or Revolution, pg. 13).  Ate 1974 WCC lwawa ensimbi eza Bungereza pounda 50,000 eri ekibiina ekirala ekya bayekera-- ekiyitibwa FRELIMO (Ibid pg 13).

     Oluvanyuma lwa gavumenti ya Rhodesia okugwa nezibwa mu mikono gya batuuju, ekiwandiiko kino kyafulumizibwa abakiise baabwe ku WCC mu lukiiko e Melbourne Australia mu may 1980:
     “Okuwangula kwaffe okwakanayokya ani teekwave eri okumalirira kwaffe kyokka, twalabirirwa era netuvugyirirwa ebintu, okubuliirirwa, no’kusabirwa ebyatuweebwa Olukiiko lwa makanisa ag’ensi yonna (WCC) n’amakanisa ga memba gaakyo.”   American Opinion, January, 1982. Pg 4.

     WCC era lwawa ensimbi eri ba nakalyakoani eri gavumenti ey’obukiika obwa konno eya Vietnamu (laba WCC: Religion or Revolution, pg. 16).  PLO, Cuba, ne’bibiina ebirala ebya nakalyakoani (laba Readers Digest, January, 1983, pg. 120).  Ate era bawa doola 823, 000 eri ekibiina ekiwagiira obwa nakalyakoani -SWAPO- mu Namibia (laba WCC: Religion or Revolution, pg. 28; oba American Opinion, January, 1982, pg. 2).

     Ate era nga bwekirabiibwa obulungi WCC-- ng’otwaliddemu NCC no’butabi obutontono-- tebikolera Katonda, naye bikola kumulwayisa!  Mu mazima biri mu bwegafu n’omulabe wa Katonda, era nga bitukiriza ekigendeererwa kya setani eky’okubera katonda era omukulembeze we-nteekateeka empya ey’ensi yonna.  Olwekyo tewali kanisa ya Katonda eteekeddwa okubeera naka-kwate/enkolagana ne WCC/NCC okukola nabyo oba okubiwagira.
     Naye ensimbi zivawa ezo WCC zekozesa okuwagira ekigendererwa kya setani ekye kanisa y’ensi emu ne nteekateeka empya ey’ensi yonna ng’otwaliddemu n’ebikolwa ebyekitujju okusobola okutukiriza kino?
     “Wano wetubuliza: Ensimbi ziva wa?  (ezisasulwa WCC)?  Eky’okuddamu kiri nti: Ziva mu gwe, ziva mu gwe bwoteeka ekirabo mu kabbo ke’kanisaeyo eyenzikiriza erina aka-kwate oba enkolegana ne NCC.  Ensimbi ziva mu kanisa yo nezigenda mukitebo kyenzikiriza yo olwo nno nekiwerezebwa eri olukiiko lwa makanisa g’ensi yonna.” American Opinion, January, 1982, pg 12.

     Olw’ensonga eyo, ekanisa yonna ewa obuyambi bwe nsimbi oba obwengiri endala yonna eri WCC oba eri amatabi, etabi lyalwo lyonna, evunanyizibwa okuwagira enkola egenderera okuleeta ekanisa emu ey’ensi yonna n’enteekateeka empya ey’ensi yonna, okusasaanya obwanakalyako-ani okuvujjigirira ebibiina ebitujju n’okutta abantu abatalina musango n’abakristayo!  Ate era ekanisa yo yenyini sikuvunanyizibwa ekyo kyokka naye avunanyizibwa omuntu yena ayegaase ne’kanisa.  (Olwebyawandiikibwa okuva mu Baibuli ku nsonga ey’obuvunanyizibwa o’bwobwegafu; Wandiika olw’okufuna akatabo; Why Are We Held Responsible for Personal, Social and Corporate Sin?  nga okozesa endagiriro eri ku muko ogusooka ogw’akatabo kano).

     Ekanisa zonna ez’enjawulo zi-memba mu matabi ag’enjawulo wansi w’okufugibwa kwa WCC bakozi ddala abakolaganira awamu ne WCC yenyini.  Naye WCC lulina enkola egamba nti tewali kanisa sekinomu memba yalwo, wabula amatabi gaayo ag’enjawulo.  N’olwekyo ekibuuzo (kisituka) kibuzibwa obanga ekanisa gundi yetaba ne WCC abakulembeze b’makanisa gano ag’enjawulo bajja kumatiza bebakulembera nti ekanisa yaabwe si memba ya WCC, so nga ddala mu mazima yetaba kulwo okuyita mu makanisa gaayo agenjawulo!
     Wamanga lwe lukalala lwagamu ku makanisa agawandiikidwa nga ekitundu kwago ageggata oba okukolaganira awamu ne WCC/NCC ate agamu okumala emyaka mingi:
     Anglican, Assemblies of God, Baptist (nga mwotwalidde ne Seventh Day), Brethren, Catholic (nga mwotwalidde enkadde), Christian, Church of God, Congregational, Community, Disciples, Episcopal, Evangelical, Friends (Quakers), Full Gospel, Holiness, Latter Day Saints (Mormon), Lutheran, Mennonite, Methodist, Missionary, Moravian, Orthodox (Bulgarian, Christian, Eastern, Greek, Hungarian, Romanian, Russian Syrian, Ukrainian), Pentecostal, Presbyterian, Protestant, Reformed, Seventh Day Adventist, United and Wesleyan.  (laba Ebbaluwa Okuva Mu NCC, January 13, 1965, okuva eri Wilbur C Parry, Associate General Secretary; American Opinion, January, 1982, pg. 11; Eyafulumizibwa Olukiiko Lwa Makanisa G’ensi Yonna, 1985).

     Newankubadde nga okutabagana n’okwegatta kwe kanisa kulambikibwa mu mawulire ag’enjawulo, abakulembeze bamakanisa begaana nti tebalina kutabagaana oba kuwa buyambi bwoona eri WCC.  Okusingira ddala obuyambi obwegafu n’okutabagana okwa Seventh Day Adventist ne WCC bwekweganiibwa abakulembeze ba SDA awatali nsonyi, So ngatte ebiwandiiko byogerera waggulu okukira ebigambo byaabwe!  Olwo ani ayogera amazima obukulembeze bwe kanisa ya SDA oba amazima amawandiike?
     Ka twekaanye ebimu ku biwandiiko bya bakulembeze be kanisa ya SDA mumawulire agafulumizibwa ekanisa, ate era tugerageranye n’ebiwandiiko ebyenjawulo okulaba nga tuyinza okuzula ani ayogera amazima.  Tujja kutandiika n’ekibuuzo oba nga ddala waliwo obuyambi bwe nsimbi obwaweebwa WCC okuva mu kanisa ya Seventh Day Adventist.
     Ekanisa ya SDA egamba bweti:-
     “...Tetuwayo buyambi bwonna eri enteekateeka ya (NCC).” Ebaluwa okuva mu General Conference (ku kitebe ekikulu ekya Seventh Day Adventists, January 25, 1967, okuva eri D.W. Hunter Asso.. Sec.. (Omuwandiisi W’obutabaganya).

     “Tetulina nkolagana mubyansimbi n’ekitogole kya WCC.  Ensimbi zonna zetufuna ng’enkanisa zisasanyizibwa mu bujjuvu mumikutu gy’e kanisa.  Tukitegerera ddala nti zikunganyizibwa ku musingi nti zakudukanya enteekateeka ez’enjawulo mu kanisa, nga tuzingiramu mu mazima ez’olwobulungi bwaffe....
     “Olwekyo ekyokuddamu mu bufunze eri ekibuuzo kyo kiri nti tetusondera sente eri (WCC)”.  Ebaluwa okuva G.C. kukitebe ekikulu ekya Seventh day Adventist, January 5, 1983, okuva eri LL Butler, Treasurer (Omuwanika).

     “Seventh Day Adventist Church-- tesasula yadde wafu olwokuyamba [WCC]”.  Adventist Review, January 3, 1985, pg. 4.

     Kino kituufu?  Ebiwandiiko bigamba ki?
     Mu mwaka 1959, ekanisa ya SDA yawereza omugatte gwa doola 6,700 olw’obuyambi obw’olukiiko lw’amakanisa agamawanga (laba ebaluwa okuva mu lukiiko lwa makanisa ag’egwanga.  January 29, 1960.  Donald F. Landwer, Assi.. Gen.. Sec.. (Omumyuka wo muwandiisi omkulu owa (NCC) Finance).
Mu 1969 baawa omugatte gwa doola 5,950 olw’obuyambi bwa NCC (laba ebaluwa okuva mu lukiiko lwa makanisa ag’egwanga NCC, April 7, 1970, Constant H. Jacquet, Director Research Library).
     Mu mazima, mu 1984 ekanisa ya SDA yenyini yakiriza ne wa doola 8,000 eri WCC neyogera bweti:-
     “Kino kitegerekeka bulungi nti kyebabadde bakola okuva emabega”.  Ebaluwa okuva ku kitebe ekikulu ekya SDA (G.C.) June 13, 1985, okuva eri Mitchell A. Tyner Esq. Omukulu wokutabaganya n’okubulirira mu by’amateeka eby’ekitongole kyensonga za bantu n’eddembe ly’ediini.  (Era laba ebaluwa okuva mu kitebe ekikulu ekya SDA (G.C.) October 23, 1984, okuva eri W.L. Murrill, Omuwanika Omuto - UnderTreasurer).

     Kati no amazima ag’ebiwandiiko, naddala okuva mu kanisa ya SDA gakakasa nti ddala bawagira NCC ate era ne WCC n’obuwagizi bwe nsimbi, okumala akasera!  Kino kitegeeza nti ekanisa ya SDA, nabuli muntu akyatabaganye nayo avunanyizibwa okuwagira okutwaliriza ekigendererwa eky’otukiriza ekanisa emu ey’ensi yonna n’enteekateeka empya eyensi yonna.  Okusasanya obwanakalyakoani, obutujju, n’okuwagira okutta abantu abatalina musango.
     Naye ate watya kubwegafu n’okutabagana okwa SDA nge-kanisa ne WCC oba erimu ku matabi gebibiina bino?
     Ekanisa ya SDA n’obukulembeze bwegaanira ddala mu lwatu nti tebalina kutabagana kwangeri yonna ne WCC oba ne NCC.
     “Aba SDA si ba memba Nakatono Ab’olukiiko Lwamakanisa Ag’egwanga (NCC).”  Ebaluwa okuva kukitebe ekikulu ekya Seventh Day Adventists, (G.C.)  January 25, 1967, okuva eri D.W. Hunter, Omuwandisi Omutabaganya. Asso Sec.

     “...Ekanisa ya SDA si memba ku lukiiko lwa makanisa ag’egwanga”.  Ebaluwa okuva ku kitebe ekikulu ekya SDA (General Conference) Dept. Of Public Affairs, ekitongole eky’ensonga z’abantu okuva eri B.B. Beach, April 2, 1982.

     “Ekitebe ekikulu ekya SDAs, si memba ku NCC newankkubadde ku WCC”.  Ebaluwa okuva General Conference October 23, 1984 okuva eri W.L. Murrile, Omuwanika omuto, Undertreasurer.

     “Nedda, ekanisa ya SDA si memba ku lukiiko lw.’ amakanisa g’ensi yonna--” Adventist Review, January 3, 1985, pg. 4.

     Mu mazima President wa General Conference (SDA) yayogera bwati:-
     “Ekanisa ya Seventh Day Adventist, si, tebadde, ate era teriba memba ku lukiiko lwa makanisa g’ensi yonna.  Sifaayo ku (mazima) ebikakasa bye muwandiise okuwakanya kino.  Ebyo biyiiye, sibituufu, bulimba bigingeginge.  Njagala okukakasa nti kino mukitegeera.  Tewali, Tewali bwa memba oba ekigendererwa eky’okufuuka memba ...Tetuli ate era tetuliba.  Nsubira ekyo muyinza okukitwala mu terekero nga obuwandiike obwejawulo obwamazima agatabusibwabusibwa.  Era obuwandiike bwemufuna nga buwakanya kino buyuzemu obusule mu kasero ka gasiya, bulimba bwenyini!”  Robert Folkenburg.  “Mukuzibwa nokuddamu”.  Ku ladiyo ya SDA Church KCDS mu Angwin, California, February 19, 1993.

     Naye ebiwandiiko bino byogera ki kukutabagana n’okwegata kwa SDA ne WCC oba amatabi ga memba gaalwo, ebyo omukulembeze wa SDA Church byayagala muyuzeemu musuule eri?  Katusoke twekaanye okutabagana kwa SDA ne NCC.

     Ekanisa ya SDA yatekeebwa ku lukalala nga memba bwe bakolagana era bwe batabagana ne NCC mu 1959. (laba ebaluwa okuva mu lukiiko lwa makanisa ag’egwanga, August 7, 1959.  Wesley B. Goodman, Associate exec. Director).
     Ekanisa ya SDA yawandiikibwa ku lukalala lwa makanisa ga memba mu NCC mu 1964 (laba ebaluwa okuva mu lukiiko lwa makanisa ag’egwanga, January 13, 1965.  Wilbur C. Parry. Assistant Council Secretary) (Ommyuka Womuwandiisi Wolukiiko).

     Ekanisa ya SDA yalina abantu babiri okuva mu G.C ku mirimu ebiri egya NCC mu 1983 (laba ebaluwa okuva ku lukiiko lwa makanisa aga kristo ag’egwanga, office ya (Research) okunonyereza okubalirira n’okuteekateeka, September 26, 1983. okuva eri Constant H. Jacquet Jr. staff atabaganya ku mirimu gy’amawulire.  Ate era balina abakiise nga ba memba ku mirimu esatu ate nga gisuuka ku bukiiko 4 (buna) obwa NCC mu 1984. (laba ebaluwa okuva kitebe ekikulu ekya SDAs (G.C.), June 13, 1985.  Mitchell A. Tyner Esq.  (Associate Director) Omukulu W’okutabaganya n’okubulirira mu kitongole ky’ensonga za bantu ne ddembe lye diini.)

     Naye ekanisa ya SDA erina enkolagana eyokumwanjo enyo bwetyo ne NCC/WCC balyoke bakirizibwe nga ba memba abakuba akalulu ku mukolo gwonna?  Ekanisa ya SDA egamba ki?
     “Ffe (SDA) TETUKUBA KALULU MU MIKOLO GYABWE (NCC).  Tetuli ba memba (ba NCC) era tetukuba kalulu”.  Ebaluwa okuva ku kitebe ekikulu ekye SDA (G.C.), January 25, 1967 okuva eri D.W. Hunter.  Omuwandiisi omutabaganya.

     “Nga ba SDA, abagenda mu nkiiko z’amakanisa g’ensi yonna bakikola nga abatunulizi, awatali kutumwa okwengeri yonna, tebalina lukusa kwogera newankubadde okukuba akalulu”.  Ebaluwa okuva ku kitebe ekikulu ekya SDA (G.C), April 14, 1970 okuva eri W.R. Beach Omuwandiisi.

     Amazima amawandiike gabikula ki kunsonga eno?
     “Ekanisa ya SDA ekuba akakulu mu nkiiko zaffe (NCC) eta era okugatta kw’ekyo balina obwa memba obutakuba kalulu mu nkiiko zaffe awalala”.  Ebaluwa okuva ku lukiiko lwa makanisa ga Kristo ag’egwanga, January 29, 1960 okuva eri Donald F. Landwer Asst.. Gen.. Sec.. Finance.

     “Banadiini abasukka mu kikumi baasisinkana mu Lima Peru, mu January, 1982.  Nebasemba (nga bakuba akalulu) awatali avuganya okuyisa ekiwandiiko kino ekikiriziganyiziddwako.  ‘Ekiwandiiko kya lima’-- Olwokuyiga olwekigendererwa n’okuddamu mu butongole okwa makanisa.  Bakkikirira amakanisa amalala gonna aga takiika mubutongole nga:- Eastern Orthodox, Oriental Orthodox Roman Catholic, Old Catholic, Luteran, Anglican, Reformed Methodist, United, Disciples, Baptist, Adventist ne ba Pentecostal”.  Faith and Order pg # 111 Baptism, Eucharist and Ministry.  Back cover akafulumizibwa olukiiko lwa makanisa g’ensi yonna, e Geneva. 1982.

     Ekanisa ya SDA era memba mu NCC okuyita mu makanisa agawansi ag’ebibiina ebyobuwereza mubitundu byabwe (Ekibiina ekyobuwereza kibaamu amakanisa ag’enjawulo mukitundu).  Ekanisa ya SDA yatabagana wakiri, naye sikukugirwa eri ebibiina bino ebyobuwereza nebitongole ebibyefananyirizako:-

--Pajaro Valley, California (laba Register Pajaronian Newspaper, January 11, 1986 ate ne Watsonville SDA Chr.. bulletin eya January 4, 1986).
--Paradise, California, (laba Paradise SDA Church bulletin eya August 23, 1986).
--Riverside, California.  (laba SDA Radio station KSGN notice for the April 19, 1987 Easter sunrise event).
--Ukiah, California.  (laba SDA Church bulletin for November 22, 1994).
--Verdugo, California (laba Recorder, November 7, 1988, pg. 22).
--Honolulu, Hawaii (laba Recorder, March 17, 1986, pg. 16).
--Garfield County, Montana (laba Glearer, June 16, 1986, pg. 18).
--Morganton, N. Carolina (laba Southern Tidings, April, 1975).
--Zephyrhills, Washington (laba East Pasco SDA Medical Centre Flyer nga March, 1989).

     Okutabagana kuno tekuli mu U.S.A (America) mwokka, naye era kuli ne mu mawanga ag’ebunay-ira gamba nga Australian Communities of Bunbury (laba The West, December 2, 1966) ne Ringwood (laba Eastern Post Gazette, November 11, 1965) Ate era eri abo abanagaana okukkikiriza nti ekanisa ya Seventh Day Adventist yatabagana ne NCC (National Council of Churches) ate era ne WCC (The World Council of Churches), ensonga zino wamanga ziteekwa okubakuba ekikangabwa okubasisimula mu tulo twaabwe twebbaganiramu!
     Mu sbbiti eyaddirirwa Ssekukulu eya 1994, Ekanisa ya SDA ne NCC batabagana wamu okukasuka ebifananyi ku TV y’egwanga ku pulogulamu Entandiikwa ya Ssekukulu eyenjawulo.  “Noweri empya!”  (laba Adventist Review, December 15, 1994, pg 7).  Pulogulamu eno eyokukasuka ebifananyi yakwatibwa ku lutambi ku kusinza okwoku sunday nga 4, December. Mu kijjukizo kyabatandiisi be kanisa ya SDA e Andrews University, n’obubaka obw’okwewaayo bwasomwa omusumba wa SDA Dwight Nelson (laba Adventist Review, December 4, 1994, pg. 7).  Yalagibwa ku TV kuntandiikwa ya Ssekukulu (11:30 pm Saturday okutuuka 12:30 am sunday), newankubadde nga ABC-TV network, n’ekanisa ya SDA bateeka ekirango ekisasulidwa mu copies 14,000,000 z’okulumgamya kwa TV (laba Adventist Review, December 15, 1994, pg 7).
     Ekirango ekisasule sky’omukolo guno, ate era nokugulawo n’okwanjula kwa pulogulamu eno ku TV kyagamba bwekiti:-
     “Olukiiko lwa makanisa ag’egwanga lubatuusaako ebivudde mu kanisa ya Seventh Day Adventists...” Adventist Review, December 15, 1994, pg 7.  (laba ne TV Guide, December 24-30, 1994 pg 55, Vol. 42 no 52, Issue no 2178).

     N’olwekyo ekanisa sa SDA mu mazima yatabagana era neyegatta ne NCC.  Ate okuva nga NCC bweri ttabi lya WCC ekanisa ya SDA eri mukutabagana ate era mu bwegafu ne WCC.  Naye buno sibwebukakafu bwokka obwekibiina tabamiruka ekya makanisa okutabagana nekanisa ya SDA ne WCC, oba mubuterevu oba okuyit mu bwa memba obwa makanisa gaayo ag’enjawulo!
     Emboozi enterevu wakati wa WCC n’abakulembeze bekanisa ya SDA yatandiika mumasekatti g’emyaka gye nkaaga (1960's) -- naddala mu 1966.  Emboozi zino ezanyumizibwa obutereevu zatuusa abakulembeze be kanisa ya SDA okusindikiriza ekanisa okutuuka ku kukaanya ku mazima ag’enjawulo ag’obubaka bwa ba malaika abasatu obwa kubikulirwa 14.  Ekigendererwa kyaabwe kyali kisambajja enjigiriza ezo ezitwawula ku makanisa agali mu WCC, okusobola okusomesa oba okuyigiriza enjigiriza ezo ezitulinyisa mu kimu nabo.
     Obukulembeze bwe kanisa ya SDA bugamba bwe buti: -
     “Olwaleero enkola engazzi nga nkadde--esimba essira ku bintu ebyo ebitwawula ku makanisa agenzikiriza endala--eyise, mu mazima ddala eyise.  Era ekyo bwekitekwa okuba”. Ministry Magazine, March, 1966, pg. 10.

     “Ekanisa yab’Adventists olwalero neteefuteefu nnyo okutambulira mu bumu n’amakanisa agaagwa edda okukira ekiseera kyonna ekyayita mu byafaayo..” Ministry Magazine, June, 1966, pg. 19-20.

     Nga ekibala ekivu mu bakulembeze ba SDA okukubiriza ekanisa okuyigiriza mu bumu nerajjagalira okubulira amazima amalongofu agasala aga bamalaika abasatu kino kyatuusa ‘General Conference’ ekitebe ekikulu eky’obw’Adventists nga ekanisa oba ekitebe eky’ensi yonna eky’okwenenyeza, nga bwekimanyiddwa n’omuwi wa magezi mu Cantebury mu 1969 mu lukiiko olwa WCC akakiiko akawakati.  (laba olupapula olwateekebwateekebwa B.B Beach oluliko omutwe ogugamba nti:- “Olukiiko lwa makanisa gensi yonna /emboozi za SDA n’obukulu bwazo”).
     Oluvanyuma lwe kanisa ya SDA okukikirirwa mu butongole mu Cantebury, akakiiko akokuntikko akokukitebe ekikulu ekya SDAs kayisa ekiteeso okuyigiriza “mu bumu” nga amakanisa amalala agali mu WCC!
     “Wabula...mubyalondebwa...enteekateeka z’ebitongole okusobola okutondaawo ekifaananyi mu bantu...bateekawo obulokozi okutuuka eri abantu abangi...okusimba essira ku mazima ago agatalina mbojaanyi (mutawaana) mu bumu n’obukristayo bwonna.”  Review and Herald, December 18, 1969, pg. 16-20, Autumn Council action.

     Kino kyekyo ddala katonda kye yalabula abantu be okumala ebyeeya--okuva ku mazima okunene okwenaku ezenkomerero--nga amakanisa gonna gegase olwekigendererwa nenzikiriza emu (laba Great Controversy, pg. 444-45).  N’ekanisa ya SDA elagajalidde okulabula kwa katonda, egaanyi okusubiiza kwe, nga bagoberera omutima gwabwe omujeemu awatali kusonyiwala baviira ddala ku mazima.
     Ebyaava mu kanisa ya SDA okwetaba mukuva ku mazima kuno n’okukiriza okuyigiriza mu bumu na makanisa gano agaagwa, abakulembeze abokuntiko aba WCC awamu nabakulembeze abokuntikko aba SDA basisinkana mu 1972 okuteesa ku kwegatta kwa SDA obuterevu ne WCC.  Enkiiko zino zawandiikibwa mu lupapula lwa ba Protestant oluyitibwa Christian Beacon.  E’lipota egamba bweti:-
     “Aba SDAs n’abakiise ba WCC basisinkanye n’abakulembeze abatabaganya okuteesa ku bwa memba SDAs n’olukiiko lwa makanisa g’ensi yonna.  Mukuteekateeka okubaniriza entteseganya zakugenda mu maso ku nsongazawano n’ensi yonna.  Entteseganya ku ntiko zakulemberwa Dr. Lucas Vischer, omuwandiisi w’okkukiriza n’enteekateeka ye mirimu ne Dr. B.B. Beach owa SDA Church.  Olukiiko lwa makanisa g’ensi yonna bayayanira okwegatako ebikolebwa munsi ebya Seventh Day Adventists”. Christian Beacon, Vol 37, no 47, December 28, 1972.

     Ekomo ly’enkiiko zino lyali ki?  Dala ekanisa ya SDA yateekebwa ku lukalala nga eyatabagana, era n’ekolagana ne WCC?
     Mu 1985 WCC lwafulumya Directory of Christian Councils nga ky’ekitabo ekiraga okuka lala lwa manya ga makanisa ga memba okwetolola ensi yonna ng’otwaliddemu n’amakanisa ago agasangibwa mu NCC n’amatabi amalala mangi.  Wamanga lwe lukalala lwa makanisa ga SDA agatabagana, agalina obwa memba era agegatta ne WCC munsi yonna:-

Fraternal associates: (Agatabagana mubwaseruganda)
     Kenya, Africa-- “Church of the east African Union --Seventh Day” Directory, pg. 15.

Associate Members: (Ga memba mukutabagana)
     Rwanda Africa--”Eglise adventiste du septie’me jour (Seventh Day Adventist Church) Directory, pg. 35.
     Solomon Islands (Ebizinga bya Solomon) “Seventh Day Adventist Church” Directory, pg. 195.

Observers: (Abatunulizi)
     Finland-- “Adventist Church” Directory, pg. 133.
     German Democratic Republic-- “Gemeinschaft der Siebenten-Tags- Adventisten (SDA Church) Directory, pg. 139.

Consultant- observers: (Abatunlizi abawabuzi)
     United Kingdom (Bungereza) “Seventh Day Adventists” Directory, pg. 163.

Membership: (Abalina obwa memba)
     Bahamas-- “SDA Church” Directory, pg. 37.
     Belize-- “SDA Church” Directory, pg. 100.
     Cook Islands-- “SDA Church” Directory, pg. 189.
     Sweden-- “SDA Church” Directory, pg. 144.

     Kuno sikwatula amatabi g’ebitongole ebyo, wabula NCC, gamemba mubujuvu aga WCC, omwo amakanisa ga SDA mwegalina obwa memba, gamba ng’olukiiko lwa m’akanisa ag’eddembe mu Hungary.  (laba Directory, pg. 144).  Obwamemba buno bwakirizibwa ab’ekanisa ya SDA (laba Southern Tidings, September, 1977), ate era ne Neal C. Wilson eyali President wa General Conference (laba Pacific Union Recorder, February 18, 1985, pg. 4).
     Naye nga bwekisubirwa, ekanisa yegaana nti tetabaganangako (ekanisa za SDA mu Hungary) ne WCC.
     “Ffe tetutabagana ne kibina ‘tabamiruka ekya makanisa ‘ekanisa yaffe mu hungary si memba mu lukiiko lwa makanisa gensi yonna, era tekikirirwa mu kiiko zaabwe” Ebaluwa okuva mukitebe ekya SDA ekitongole eky’ensonga zabantu, February 2, 1987, okuva eri B.B. Beach.

     Ekanisa ya SDA memba mu kitongole kye kanisa ya Kristo mu DRC (ZAIRE), Africa; era kino kyakirizibwa ekanisa ya SDA.
     “...Abakulembeze ba b’Advent munsi yonna...bewaayo mu mikono gy’ebyetaago bya gavumenti okusobola okukwatagana n’ekitongole ky’obupoletesitanti...ate nga March 24, 1972, ekanisa ya Seventh Day Adventists yafuka esabirwa okusabirwa okutukuvu mu kanisa ya Kristo mu D.R. Congo (Zaire).” Review & Herald, February 27, 1975.

     Ate era ekanisa ya SDA memba mu kitongole kye kanisa ya ba china ‘eya nakalyakoani’ --mu China.
     “Aba SDA bebamu ku nzikiriza ezasooka okudda obugya n’okutabagana ne kanisa ya nakalyako ani.  Amakanisa amalala nago gegattako mu bbanga eritaali gwanvu, naye sigonna.  Gano ge ga Evangelical Church ne Chinese Orthodox Church, esooka nga eri wansi wobukulembeze bwa Rev. Wang ate esembayo ngekulemberwa Rev. Watchman Nee.” Haag-se Courant (Dutch Newspaper) Olupapula lwa mawulire mu lu Daaci, January 27, 1962.

     “Ab’Adventist baalangirirwa okuba abazaliddwa obugya nga ekitongole.  Baatikirwa mubutongole nga bayitibwa ‘ekanisa ezze obugya’.  Esokedde ddala munakalyakoani mu China.” The Story of Mary Liu, p 222 by ekyawandiikibwa Edward Hunter.

     Oluvanyuma lw’okufulumya olukalala olwa matabi ga m’akanisa ga memba, WCC lwafulumya ekiwandiiko kino:-
     “Okwongereza kukukolagana n’enkiiko z’amakanisa ag’ebitundu n’ezegwanga ezimenyeddwa waggulu WCC luli mu nkolagana n’okutabaganya kwa makanisa g’ensi yonna, nga mwemuli:- Anglican Consultative Council, (Olukiiko Olwebuzibwako Olwa Anglican) Baptist World Alliance, Disciples Ecumenical!  Consultative Council, Friends World Comittee for Consultation, General Conference of Seventh Day Adventists, Lutheran World Federation, Mennonite World Conference, Old Catholic International Organisation, Reformed Ecumenical Synod, Salvation Army World Alliance of Reformed Churches, World Convention of Churches of Christ, World Evangelical Fellowship, and World Methodist Council.”  Directory of Christian Councils, pg. 244.

     Ate lino sirye komo lye kanisa ya SDA okukolagana ne WCC.
     Mu 1973, ekanisa ya SDA awamu ne WCC bawandiika ekitabo MU BUMU DDALA.  Era ku ddiba lyakyo erya ddyo kuwandikiddwako nti kyawadiikibwa; “Olukiiko Lwa Makanisa G’ensi Yonna Ne Kanisa Ya Seventh Day Adventists.”
     Mu 1989 ekanisa ya SDA namakanisa amalala, “bakiriziganya okukola olukiiko lwa makanisa mu Estonia, olwasokera ddala olwengeri eno okukolebwa mu USSR” Christians in Crisis Newsletter, Vol 5, no 2, March-April, 1989, pg. 1.

     Ekanisa ya SDA era tesonyiwala kugamba bantu bagoberezi baayo nti bamukwano nnyo ne WCC!
     Mu 1983 WCC lwatuula olutula lwabwe olwomukaaga mu Vancouver, Canada era n’ekanisa ya SDA yakkikirirwa alipota eno wamanga yawandiikirwa abantu aba Seventh Day:- “Ab’Adventists bezulidde emikwano mu lukiiko lwa madiini agensi yonnaMessenger, September, 1983, pg. 5.

     Mu lupapula olulala olw’ekanisa ya SDA, Douglas Devenich, eyali omukiise we kanisa ya SDA mu lukungana luno olwa WCC mu 1983 (ate oluvanyuma yafuuka omukulembeze omukulu owolukiiko lwa SDAs mu Canada) agamba bwati:-
     “...WCC siruteekeddwa kunenyezebwa olw’ebyo bye lulubirira okukola...Omulanga gwava mu Vancourver mu 1983 olwenteekateeka empya ey’ensi yonna....
     “Ensonga yange eri nti WCC, nga ekibiina ky’obukristayo ekitabaganya nantamegwa kyekinaba eky’okuddamu olwo kukirizisa n’okutabaganya ensi n’omulimu gwa Yesu Kristo ate nemukusaawo obwakabaka bwa Katonda obwekimpatira”. Ministry Magazine, November, 1983.

     Olw’ekyo ekanisa ya SDA teri mukizikiza ky’obutamanya olukiiko lwa makanisa gensi yonna kyegakola, naye bategerera ddala ekigenendererwa kye WCC nga kwe kuleetawo enteekateeka empya ey’ensi yonna ku lwa setani.  Ate era nga ddala balubirira okukola n’okutabagana nabo.
     Ekanisa ya SDA era yawandiikibwa nga memba mu bujuvu ey’olukiko lwa makanisa ag’ensi yonna n’omulamwa gwakyo n’ekibiina kye bye diini, akakiiko kokukiriza n’enteekateeka, okuva mu 1968. (New York Times, July 12, 1968).  Akakiiko kokukiriza n’enteekateeka (Faith & Order Commission) “kagaba obuyambi ebirubirirwa bye diini, amakanisa byegalafubanira olwo kwegatta” ne WCC (laba Faith and Order Paper no 111, Baptism Eucharist & Ministry, pg. 7).
     Naye abakulembeze b’ekanisa ya SDA bagamba ki ku muzima ago waggulu?
     “Okusookkera ddala kambakakase kino nti ekanisa ya SDA ssi memba ku WCC newankubadde okukiriza enteekateeka (Faith & Order) ya kakiiko kalwo”. Ebaluwa okuva ku kitebe ekikulu ekya SDAs (G.C.) Ekitongole ky’ensonga z’abantu, April 2, 1982 okuva eri B.B. Beach.

     Ekanisa ya SDA yayita omukulu omukise wa WCC nga omugenyi omutunulizi mulukiiko lwe kitebe ekikulu ekya SDA (1990 General Conference Session) olwatuula e Indianapolis mu Indiana, okuwaayo obubaaka eri olukiiko.
     Joan Campbell, omukulembeze wa office y’America eya WCC yagamba bwati:-
     “Kya sanyu gyendi okubeera namwe nate ntuusa okulamusa okwesanyu okuva mu WCC era n’okuva eri amakanisa ga memba munsi yonna--bwenabadde mukusinza kwamwe olunaku lwajjo, kwabadde nga okwange kwenyini.  Era kyankakasiza nti ebintu bingi byetuyiga mu bumu...
     “Olwekyo bakristayo bannange, okufananira ddala nga’abo abaali mu pentecote mu naku ez’edda, tutunuliganeko fekka na fekka netugamba nti ebintu byonna tubirina mu bumu.” Adventist Review, July 10, 1990, pg. 6.

     Ekanisa ya SDA teri mu WCC kyoka, nayegera yetaba, ate kitundu ku mugendo tabamiruka ogw’amakanisa g’ensi yonna nga ekitundu ky’omubiri gwa Kristo era nga gakolerera okugatta amakanisa gonna awamu mumubiri gumu ddala nga WCC!
     Okwegatta kuno kutegerekeka bulungi nekirubirirwa kye kanisa ya SDA okukolaganira wamu ne’nzikiriza oba amadiini amalala-- nga mwotwalidde ne Kelezia Katolika!  Era ngeri ki esinga endala eyokufuna amazima amawandiike esinga yo yenyini (ddobozi) lye kanisa ya SDA yenyini!
     “Nga 29 October, 1966, akafubo akalala katukibwaako olwe ddembe lye ddiini mu Colombia.  Omw’Adventist, Raimundo Pardo Suarez, yalondeebwa nga omukulembeze omukulu....Amumyuka ye Rev. Noel Olaya, kabona omukatuliki era ow’oluganda lwa bakulembeze abakulu abaayita aba Colombia. H. Niemann omusumba we kanisa eya wakati (Central) mu Bogota, yalondeebwa okuba omuwandiisi, ne Fernando Tapias, omw’Adventist omusubuzi, nalondeebwa okuba omuwanika, Dr. Carlos Didacio Alvarez munamate eka omukatuliki era nga ye mundu emenye eye kibiina kye ddembe lyeddini.  Oyo ye mubalirizi omukulu.  Abakulembeze abalala balondeebwa okuva mubakulembeze b’amadiini agenjawulo agasendasendebwa”. Review and Herald, March 9, 1967.

     “Abo abakungana awamu okutendereza Mukama mu nyimba baava mu makanisa gano:- Raymond Blackford, Bethel Lutheran; Dr. William Early, Cicero Methodist; Rev. Stephen Bard, Cicero Weslayan; Father Duane Craycraft, Sacred Heart Catholic Church; Rev. Don Paden Cicero Christian; n’omusumba Randal Murphy, Cicero SDA.”  Review & Herald, March 9, 1967.

     “Kyetweanira ku kino ekigenda mu maaso kye kino nti ensalosalo z’enzikiriza zayabuluzibwamu.  Ku kulonda okwagwa okwabakulu mu lukiiko olwa buli mwaka (olwe kibiina ekigaba obuyambi ekyomu Asia).  Olukiiko olugya lwalondebwa.  Lulimu abakatuliki babiri, Presbyterina omu, Anglican omu, Pentecostal omu nabadventists bana abava mu Australia nga ba-China.” Record, September 3, 1973.

     “Robert Hunter, Omusumba we kanisa ya SDA e Morganton, obukiika kono bwa Carolina, district, era memba owe kibiina eky’obuwereza mu gwanga eryo, yetaba ku lunaku lw’okuwanyisa ebituti, nga bawanyisaganya ebituti ne Thomas Burke owe kelezia y’omutukuvu Charles.  Omubala gwebyakolebwa mu kibuga kyonna gwali:- `Kuweebwa omukisa okutabagana kwaffe kuno’”.  Southern Tidings, April, 1975.

     “...Ba memba mu SDA Church eye Japan betaba mu kusinza kwe kibiina tabamiruka ekya makanisa ag’ensi yonna okwaliwo mu January e St. Pius X Roman Catholic Church.  Omusumba wa SDA Lyle Arakaki yayitibwa okubulira obubaka....
     “Okusaba kuno okwenjawulo kwakolebbwa okulambika entandiikwa ya wiiki (sabbiti) eyokusaba olw’okwegatta kw’obukristayo....Ekitongole (kino) ekye Manoa ekitabaganya amakanisa no kubunyisa enjiiri kyekyasasulira okusiinza kuno okw’okutabaganya amakanisa....
     “Manoa Interchurch service and Outreach (MISO) kiziingiramu eklezia katolika eyo mutukuvu Pius X, ekanisa ya Lutheran eye Honolulu, ekanisa eyo mukiwonvu kye Manoa eyitibwa ekanisa ya b’Advent aba Japan.” Recorder, March 17, 1986, pg. 16.

     “Ekanisa ya SDA yateekateeka olukungana lwokuyigiriza kw’olukiiko lwa makanisa olwe Verdugo...” Recorder, November 7, 1988, pg. 22.

     Lwaki ekanisa ya SDA eyayanira nnyo/ ejumbira nnyo okukolaganira awamu n’amakanisa gano aga babuloni?
     “Ffe abe kanisa ya SDA tuli bumu nebaganda baffe aba Kristayo ab’enzikiriza endala mu misingi emikulu egy’okukiriza egyo egyaweebwa edda abatukuvu”.  Questions on Doctrine, pg. 32.

     Nga ogyeko ebyo waggulu, ekanisa ya SDA yalina omu kubakulembeze baayo ku bakozi be kitongole ki tabamiruka ekiyitibwa Ekitabaganya kya bakristayo bensi yonna (Christian World Communion).
     “Rome - Ba memba abakozi ab’ebibiina ebitabaganya abakristayo b’ensi yonna (Christian World Communions-- CWC’s World organizations for the various christian traditions).  Ebibiina ebisukka mu kumi na bibiri byatuuza olukiiko olwa buli mwaka olwa bawandiisi babyo wano nga 20-23 October.  Lwazingiramu n’enteesaganya ez’enjawulo ne Papa, n’abakulembeze ba m’akanisa ga Federation of Evangelicals mu Italy...
     “Olukiiko lwalonda Piere Duprey, omuwandiisi wo buwandiisi bwa Vatican obukulakulanya okwegatta kw’obukristayo, nga sentebe waakyo eyadda mu bigere bya Joe Hale, omuandiisi omukulu ow’olukiiko lw’ensi yonna olwa ba Methodist.  B. B. Beach, omukulu w’esonga z’abantu neddembe ly’ediini ku lukiiko olukulu olwe kanisa ya SDA, agenda mumaaso okukola ng’omuwandiisi we kibiina kino....
     “Hale yagamba nti newankubadde nga ebibiina bino ebyo bwegaffu ebisinga by’amaanyi ekimala okusobola okukola kinakimu, olwekigendererwa ky’ensi, twetaaga okukola ekisukkawo, okuba nga tusingaawo nga ekanisa awamu tusobola okulubirira mu maaso mu bibondo ebigumivu mu bibiina ebyenjawulo.  Yayiiya ekirubirirwa mungeri eyo nga kinyonyola era nga kirangirira mu lwattu obwegafu obusinga ne kubuliwo kakano....
     “Nga ojjeko ebyo ebinyonyoddwa, ekibina kyobwegafu bwa bakristayo b’ensi yonna kirimu; Lutheran World Federation, olukiiko olwebuzibwako olw-Anglican okutabagana kwa Baptist bensi yonna, (Baptist World alliance).  Salvation Army, Friends (Quaker) world Committee for Consultation, World Evangelical Fellowship, Mennonite World Conference, World Convention of Churches of Christ, Reformed Ecumenical Synod, World Alliance of Reformed Churches, Ecumenical (Eastern Orthodox) Patriarchate, Moscow (Eastern Orthodox) Patriarchate, Church of the Brethren and International Old Catholic Bishops’ Conference, staff from the World Council of Churches (Abakozi bolukiiko lwamakanisa gensi yonna)”. Ecumenical Press Service, October, 1986 (86.10.126).

     Bert B. Beach si muwandiisi wa kibiina kino ekigatta amakanisa g’ensi yonna kyokka, naye era yali muwandiisi wa kibiina ekimanyiddwa nga Amaka agejusa ag’ensi yonna (World Confession Families), nga kye kimu kwebyo ebikola okukiriza n’enteekateeka yebikolebwa aba WCC!
     Beach kenyini ayogera bwati:-
     “Mazze emyaka mwenda nga nkikirira ekanisa yaffe (SDA) ku lukiiko luno, nga nkola ng’omuwandiisi w’olukiiko”.  Ebbaluwa okuva ewa B. B. Beach, November, 1977.

     Ekanisa ya SDA teri mu bwegafu kyokka ne WCC/NCC ne kibiina tabamiruka eky’amakanisa ago, naye era banonyereza obwegafu bwenzikiriza zino nga banywegera obulimba bwa makanisa gazo naddala obukatuliki.
     Mu January, 1982 obukulembeze bwa SDA nga bukkikirira ekanisa ya SDA bwa kkika era bwali kitundu ku lukiiko luno tabamiruka olwokukiriza n’enteekateeka olwa WCC mu Lima, Peru (laba Faith & Order paper 111 Baptism, Eucharist and Ministry, ku ddiba eryemabega).
     Ekitabo ekyo ekyawandiikibwa WCC ebiwandiiko ekanisa ya SDA, “Byeyasemba mubutongole” mu byakolwako mu kiwandiiko kino mu lukiiko luno olwatuula mu Lima kye bawereza eri WCC ku nsonga ez’okutabaganya amakanisa mu lukiiko luno.
     Ekanisa ya SDA mubutongole eggamba bweti ngeyita mu lukiiko lwayo ku nsonga z’okutabagana kwa makanisa nti mu bingi;
     “Nti ekigendererwa ekikulu eky’ekiwandiiko kino kwekukyoleka--nti aba SDA nga bategedde Eucharist oba ekijjulo kya Mukama waffe-- ate era n’okumunyungula aba Adventist okutegeerera ddala nokuteeka mu nkola Eucharist...
     “Munteekateeka olwokujjaganya olwa Eucharist SDA (Abalindirizi) banaazaganya ebigere...” Okwanukula kw’ekanisa eri BEM (Baptism, Eucharist & Ministry, Vol. 2, pg. 341-343, ekyafulumizibwa WCC mu 1986.

     Ekanisa ya SDA ‘Eucharist’ ekiyita okujjaganya okwa masekati ge kanisa ya bakristayo (BEM, p 341).

     Ekanisa ya SDA era egamba bweti:-
     “Ebiseera ebimu SDA eucharist ekitwala nga sacramento”.  Okwanukula kwe kanisa eri BEM, Vol. 2, pg. 342.

     Ekanisa ya SDA tekyatwala Eucharist nga “Ekyobuvoozi obukulu” ate era “obulimba obuvoola eggulu” (laba Spirit of Prophecy, Vol 4, pg 63) naye kakano nga bakitwala nga ekitundu ku nzikiriza entukuvu eyokumwanjo eye kanisa!  Naye ensonga eri emu okulangirira kino eri amakanisa amalala ga memba aga WCC; mazima ddala ekanisa ya SDA (obukulembeze) bwalibadde butegeeza ba memba baayo obuwagizi bwabwe ku nsonga yobulimba bwobukatuliki?
     Mu 1991 WCC lwatuula mu lukiiko olwokwewaayo mu Caniberra, mu Australia, abakiise mu SDA tebalutumirwa mwana era eno ye alipota eri aba SDA mwenna:
     “Era twaligibawadde mu bujjuvu singa ebbanga litumala--okubanyonyola WCC-- gyerupikiriza omwoyo omutukuvu ne Eucharist.  Essira lino lyona litukanira ddala n’obuyinza bwobubaka bwa ba malaika abasatu”. Adventist Review, May 2, 1991, pg, 10.

     Kuva ddi obulimba buno obw’obukatuliki obwa Eucharist, obwatuusa kukutta kw’obukadde bwabantu (millions) abakristayo abapolotesitanti mu biseera by’ekizikiza bwe bagaana okukiriza enjigiriza eno ey’obulimba, busa ngibwa mu bubaka bwa bamalaika abasatu aba kubikulirwa 14?  Toyinza kugisanga walala wonna mubyawandiikibwa, naye ate mububaka bwa bamalaika abasatu!  Engeri yokka omuntu gyayinza okugifuna kwekugigatta mu-bwo ekyo ekanisa ya SDA kyekoze.
     Ekanisa ya SDA eyaleero si yemu n’eyo Katonda gyeyasitula!  Newankubadde okuyigiriza amazima (Olwobukakafu obutawakanyizika obwa kino---okuviira ddala mu kamwa ka SDA-- Wandiika ofune akatabo; Transmutation of the three Angels Message; oba akatabo; The Abomination of Desolation and Church History, nga okozesa endagiriro kumuko ogusooka ogwakatabo kano).
     Ekanisa ya SDA mu mazima eri mu bwegafu era nga kitundu ku WCC/NCC ne kibiina tabamiruka eky’amakanisa agali mumugendo.  Ekanisa ya SDA kitundu ku bwegafu obw’obukafiri no bu Rumi ne Protestante enkafiri era nga eri mu bwegafu ne Babuloni ekinene!
     Okwegatta kuno na makanisa amalala nga Babuloni kirambikiddwa bulungi mu kitabo, What I Like About...  The Lutherans, The Catholics, The Methodists, The Charismatics The Baptists, Our Jewish Friends The Adventists; Rescuers of Neglected Truth, ekyawandiikibwa George Vandeman, kyafulumizibwa Pacific Press Publishing Association mu 1986.  Era kyekyali ekitabo kyo bu minsani ekyomwaka 1987.

     Kino ekitabo ddala kyakutabagana kwa makanisa g’ensi yonna; era ekanisa ya SDA egamba bweti:-
     “Ekitabo kyokute mu mukono gwo kwekuzalibwa kwe kirowoozo era ekiseera kyako kituuseWhat I Like About, pg. 3.

     Enzikiriza zonna ezogedwakko waggulu mu kitabo ekyo za mala dda okufuuka ekitundu ku Babuloni, so nga ekitabo kino kigatendereza gonna, nga kigamba nti gonna gakoze kinene nnyo ku lwa mazima g’enjiri ya Yesu Kristo.  Ate era kyakyusa ku lwa makanisa gano aga Babuloni nga kiragirira abasomi baakyo okutukirira emu ku nzikiriza ezo ezimenyeddwa, ate era nekibawa endagiriro ez’enzikiriza ez’enjawulo!  (laba What I Like About, pg. 108-109).
     Ensonga ekanisa ya SDA gyeyinza okuwa lwaki eyagala nyo enzikiriza zino endala, yamakulu abiri; Agasoka; bagamba “Twetaaga okunyweza entabagana (Ibid., pg. 51), Kubanga “oba bakristayo oba bayudaaya, ffena tuli lulyo lwa Katonda awamu” (Ibid., pg. 83).  Agokubiri; mu mazima ddala ekanisa ya SDA Ekiriziganya era eyigiriza kyekimu n’enjigiriza za Babuloni!

     Kitegerekeka bulungi nti ekanisa ya SDA yegattira ddala n’enzikiriza n’amadiini amalala, eranga mu butuufu ekola erubirira ekanisa n’eddiini emu ey’ensi yonna!  Kino kikakasibwa okusinzira ku mazima gano wamanga.
     Mu 1993, abakiise b’amakanisa g’ensi yonna basisinkana mu Chicago, Illinois kukizimbe omutesezebwa amadiini g’ensi yonna.  Olukiiko luno lwateekebwateekebwa okutaanya enteekateeka eze kanisa emu ey’ensi yonna.  Ekiwandiiko kyaabwe ekyakolebwa nga September 5 ekikubira ensi yonna omulanga kyatekebwako emikono, “nga kikuba omulanga ogw’okwegatta kwa ma ddiini gonna kunsi yonna okufuuka erimu(The Worlds Last Dictator, pg. 98 ekyawandiikibwa Dwight L. Kinman).  Ate era makanisa ki agakikirirwa nti gaalwetabyemu?
     “Dalai Lama yaliyo oyo eyeyita musajja katonda.  Joan Campbell, omuwagizi w’omwenkanonkano era omukulembeze w’okuwagira enzikiriza ya Karl Marx ku NCC yaliyonnyo.  Ba Lucious Trust abakiise b’eddiini y’omulembe omugya (New Age) nabo baliyo.  Ba voodo, bakabona abawaggulu, nebibinja ebya Wicka, nabafuma bonna baliyo.  Aba Mason abaamanyi nabo bakiika.  (Free Masons) Aba Seventh Day Adventists Church nabo bakikirirwo.  Abasikirizibwa setani nabe kibinja kya basumba nabasinza setani, aba Baptist ab’eddembe, aba Zoroaster paka ku ba Zen Buddha bonna bakkikirirwa.  WCC ne kanisa ey’amaanyi eye Roma zakkikirirwa nnyo.  Gonna gasisinkana okujaganya “olwokwegattira mu bumu”. The World’s Last Dictator, pg. 97-98.

     Naye Katonda ajja kwefunira ekanisa ye n’abantu okweyawulira ddala n’okwesala ku makanisa ga Babuloni, basobole okuba abantu be abaganzi gyali era ekintu kye ekiganzi munsi eno ejjude obubi.
     “Kale kaakano bwe munaawuliranga eddoboozi lyange, nemukuuma endagano yange, bwe mutyo munabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna.” Kuva 19:5.

     “Era munaabanga batukuvu gye ndi: kubanga mukama ndi mutukuvu, era nabaawula mu mawanga mubeere abange”. Eby’abaleevi 20:26.

     “Kubanga gwe oli gwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo, mukama Katonda wo yakutonda okuba eggwanga eryenvuma gyali, okusinga amawanga gonna aggali ku maaso g’ensi....
     “Era Mukama ayatudde leero gwe okubeeranga egwanga eryenvuma eri ye yenyini, nga bwe yasuubiza era weekuumenga ebiragiro bye byonna; era omugulumizenga okusinga amawanga gonna geyakola, olwettendo n’olwerinya, n’olwekitiibwa; era obeerenga egwanga ettukuvu eri mukama Katonda wo, nga bweyayogera”.  Ekyam. 7:6,  26:18-19.

     “Naye mmwe muli ggwange ddonde, bakabona ba kabaka, kika kitukuvu, bantu ba nvuma, mulyoke mubuulirenga ebirungi by ‘oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kutangaala kwe okw’ekitalo”. 1 Petero 2:9.

     “Katonda alonze abantu abokulangirira obubaka bwa malaika ow’okusatu eri ensi.  Abo bakubeera bantu ba nvuma munsi eno eya makanisa ag’enzikiriza e’zimeenya AMATEEKA ga KATONDA.”  Review & Herald, June 21, 1898 (Vol. 3, pg 584).

     Naye ekanisa ya SDA, ekooze ki okusinziira ku kigendererwa kya Katonda eky’okubeera abantu be ab’envuma, ekintu kye ekiganzi gyali so si eri omulala yena?  Bagaanyi okuyita kwa Katonda okubeera abantu be ab’envuma gyaali, naye begaase n’amakanisa agaagwa.  Bagaanyi okubeera abantu ab’envuma, era abatukuvu eri Katonda, naye balonzeewo okutabagana n’okukolera awamu ne lusifa ne ba agenti be okutuukiriza ebigendererwa bye!  Baganidde ddala okuyita kwa Katonda okw’okwagala okusukirivu nekisa ebibagonomoddwako, naye kakano nga bafuuse ekintu ekiganzi ekya Babuloni.
     Ddala ekanisa ya SDA n’abantu baayo bayinza kukiriza batya nti bakyayinza okukola omulimu gwa Katonda, era nebalangirira obubaka bwe obwa bamalaika abasatu, okumutya, okumugondeera nokumuwa ekitiibwa, era n’okumutendereza, ebigwanira erinya lye ettukuvu nga bagaana okuyitibwa abaana ab’envuma era abattukuvu nga battabagana ne ba agenti ababi aba setani, n’ebitongole bye ebisiba ebinywa bya lusifa?  Buzibe bwangeri ki!
     Nga ekanisa ya SDA n’abantu baayo mwe batade obwesige, era nga batabagana nga bali bumu n’obukatuliki obu Roma, Protestant enkafiri, NCC ne WCC no lulyo tabamiruka, eky’amakanisa, bayinza batya okubeera abantu ab’envuma era ekika ekittukuvu nga batabaganye ne bekobaana n’abalabe ba Katonda abakolimire aba Babuloni?  N’olwekyo SDA Church n’abantu tebakyali bantu ba Katonda ab’envuma.  Ne Katonda yenyini atutegeeza bwati:-’
     “Abeyita abantu ba kristo tebakyaali bantu banvuma.  Olukoloboze olubaawula kunsi terukyateegerekeka.” Review & Herald, June 21, 1898 (Vol. 3, pg 584); laba ne Christ’s Object Lessons, pg. 315-316; laba ne Testimonies, Vol. 8, pg. 118-19).

     Naye ebyafaayo bibateegeza ekintu kyekimu; nti ekanisa eyali enganzi wamu n’abantu tebayinza kusigala nga gwanga ddonde singa batabagana n’abalabe ba Katonda.
     “Okutabagana okwakolebwa aba Isirayiri ne’banagwanga abaali babaliranye kwavamu okufiirwa obuganzi bwabwe eri Katonda nga ab’envuma.  Bakyusibwa (empisa embi) Ebikolwa ebibi ebyaabo bebatabagana nabo mu ngeri etakirizibwa.....
     “Obulamu n’ebyatuuka ku Isirayiri bye byonna ebigenda okutuuka kwabo bonna abadda munsi okufuna amaanyi, NGA BALEKA MUKAMA KATONDA.  Abo abaleka omuyinza wa byonna, ensibuko y’amaanyi, nebalowoza okutabagana n’ensi, nga gyebassa obwesige bwaabwe, ne’banafuyizibwa mu mwoyo nga abo bebesize....
     “Nga besambye Katonda, nga tewali kakwate ku ye, banakirizibwa okuva mwabo abagugubidde ku butawa Katonda kitiibwa nga besigamye ku mukono ogwa maanyi ag’ensi”.  Review & Herald, August 4, 1904 (Vol. 5, pg. 63).  Ate era soma ne Testimonies, Vol 1, pg. 283).

     “Egwanga lya Bayudaya lyari mu busibe, nga baasasana nga mukama bwe yakirangirira bwekyalina okuba singa tebakola nga abantu be ab’envuma okuwa ekitiibwa n’okutendereza Katonda.  Bava ku Katonda; tebatya n’okuwa ekitiibwa n’okutendereza erinya lye ettukuvu, ne yekaalu mwe batenderezanga nezikirizibwa.”  Manuscript Releases, Vol. 7, pg. 334 (Ms 122, March 10, 1897).

     Nga ekanisa ya SDA yegatta mu kwekobana okwobusatu ne Roma ne Protestant enkafiri-- nga mwotwalidde ne NCC/ WCC n’omugendo gwe kibiina tabamiruka eky’amakanisa tegaanyi bugaanyi mateeka ga Katonda okuba ab’envuma okuva eri amakanisa amalala, naye era egaanyi n’omuntu omulala.  Egaanyi Mukama era Omulokozi Yesu Kristo.
     Kristo yamala ebyaasa 18 ng’ateekateekera ekanisa ya SDA okutuka okubaawo, era nga akakasa byonna okutukirira.  Yakolera ekanisa ya obutaweera, nga abikula amaaso ga bantu be eri amazima ag’omuwendo ago agawakanya ensi, era nga gateekateeka okudda kwe omulundi ogw’okubiri kunkomerero y’ekibi.  Awatali kuweera, yayita abantu be ab’envuma egwanga eddonde ekintu kye ekiganzi okulaga empisa ze ne za Katonda eri ensi yonna, nga baleka obulimba bwa setani.  Ate era abantu ne kanisa ye engaanzi okugaana okwagala kwe okwekitalo, okusukirivu ne ba mukuba amabega, nebagaana okuyitibwa ab’envuma, nebatabagana ne setani n’omugole omwenzi owe Babuloni ne kanisa: KINO KRISTO KIYINZA KUMUYISA KITYA?
     Kristo ayiye amaziga genkana wa ku nsonga eno?  Kulumwa kwenkana wa?  Bugubi ki nate bwayinza okugumikiriza?  Ayinza kuba nga alowooza ki bwalaba nga abantu abeyita ababe nga bebase nga bamattivu nti kiri mulaala eri ekanisa ya SDA so nga ddala mu mazima kazigizigi mwerere?  O, singa abantu baffe bazukuka ne bekaanya embeera Kristo mwali kubanga abantu be abaali ab’envuma, ne kanisa emugaanyi, are nga bagaanyi okuyitibwa ab’envuma, nga batabaganye mu bwenzi n’omulabe we kayingo era kakano nga bamuwakanyiza ddala nga bamulwanyisa mu maanyi agatanyonyolekeka.
     Okusinzira nga ekanisa ya SDA bwekoze bino byonna tekyaali kanisa nnonde, yanvuma oba eyamazima nakatono!  Tekyaali kintu kyonna wabula ekifaananyi ky’ekanisa eya mazima eya Katonda!  Kakaano nga bwetakyali kanisa ya Katonda nnonde era ey’envuma n’akatono, kale kakano yaani?  Ya setani!  Ate erinya eddala mu Baibuli eritegeeza ekanisa ya setani lyeriluwa?  Babuloni!
     Ekanisa ya SDA yatabagana, era trina njawulo ne maama wa benzi--kelezia katuliki eye Roma--emanyiddwa nga Babuloni.  Ekanisa ya SDA yatabagana ne muwala wo mwenzi omukulu nga ge makanisa go bu protestant, NCC ne WCC era nabyo nga Babuloni.  Era nga eri kumwanjo nnyo era etabaganye ne Babuloni zino ezaagwa amakanisa ga protestant nga gyobeera nti mwanyinawaazo Era mwanyina wa Babuloni ekyaggwa ddala.
     Mu mazima, mwanyinaffe E.G. White yalabula ekanisa ya SDA kuki ekiyinza okuva mukino.
     “Tuli mukatyabaga akokufuuka muganda wa Babuloni ekyaagwa, ak’okukiriza ekanisa zaffe okuyingizibwa-mu obukafiri, era nezijjuzibwa buli dayimooni era nezifuuka ekomera erya buli nyonyi embi ekyayibwa.” Manuscript Release, Vol. 21, pg. 380 (Letter 51, September 6, 1896).

     Naye kakano ekanisa ya SDA bwefuuse muganda wa Babuloni ekyaagwa, oba muganda wa makanisa ga protestante enkafiri, kale ani nyabwe?  Roma!  oba oyo “omukulu mubwenzi” (laba Ezekyeri 23:43-44).  Era Mukama Katonda nga yalabula ekanisa ya eya SDA ne mu kino!
     “Laba, buli muntu agera engero anaakugereranga olugero luno ng’ayogera nti Nga nnyina ne muwala we bw’atyo.  Oli muwala wa nnyoko atamwa bba n’abaana be; era oli wa luganda ne baganda bo abatamwa ba bbaabwe.” Ezeekyeri 16:44-45.

     Roma nga bweri Babuloni, n’obuprotestante nabwo Babuloni, olw’ekyo ekanisa ya SDA efuussibwa Babuloni!  ng bweri mukutabagana n’amakanisa aga Babuloni, kale teyinza kuba kintu kirala wabula Babuloni!
     Kakano waliwo ab’Adventists abakayana nti ekanisa yaabwe SDA teyinza kufuuka Babuloni.  Bagamba:      “SDA Church (teyinza) kufuuka Babuloni, tesobola kuba Babuloni, si nsonga oba nga eyenze ku mulyolyomi nabagoberezi be, ate era si nsonga oba etabaganye ne Roma, oba Protestante NCC, WCC ate era nensi yonna; kubanga SDA Church teyinza kuba Babuloni”.

     Newankubadde nga tewali bisuubizo bya Katonda ebiweebwa awatali bukwakulizo bwa buwulize (laba Faith and Works, pg. 47; Evangelism, pg. 695; Selected Messages, book 1, pg. 67; Prophets and Kings, pg. 293), ate era nga ojjeko ensonga ey’amazima nti Ellen White yawandiika nti ekanisa ya SDA yandikyusiibwa okufuuka Babuloni singa tebatukiriza kigendererwa kya Katonda nebatabagana n’ensi (laba Testimonies to Ministers, pg. 265; Selected Messages, book 2, pg. 68; Testimonies, Vol. 8, pg. 250), Waliwo abatajja kukiriza.  Naye ensonga eno eddako etteekwa okugonjoola ekibuuzo kyo kwemulungunya kuno emirebe gyonna.
     Watya singa ekanisa ya SDA yerangirira yo yenyini okuba Babuloni era n’egamba abantu baayo okugyeyawulako?  Singa ekyo kibaawo, ani anakiwakanya?  Mazima ddala tewali anawakanya nti ekanisa ya SDA si Babuloni!
     Obadde okimanyi nti ekanisa ya SDA, okuyita mw’ebyo ebigifuula kyeri, yerangirira okuba ekitundi ku Babuloni ekinene, ate n’egamba abantu baayo okugyawukanako!  Nkusaba osome n’obwegendereza biki ekanisa ya SDA yenyini byeyogera:
     “Ekinyusi n’amaanyi g’ekibiina tabamiruka eky’amakanisa kyatukibwako oluvanyuma lwokulondawo Olukiiko Lwa Makanisa G’ensi Yonna....
     “Okusinziira ku bu nabi bwa Baibuli n’obuwandiike bwa E.G. White, aba SDA basuubira obuwanguzi okuyita mu mugendo tabamiruka okugyaawo enjawukana mu buprotestant era nokugatta obukristaayo bwonna nga baziba enjawukana ezibaddewo wakati wa bakatuliki na batali bakatuliki.  Omugendo gwe kibiina tabamiruka ekya makanisa g’ensi yonna gujja kufuuka kawefube okutabaganya ensi n’okutebenkeza emirembe gy’ensi yonna nga beyambisa amaanyi g’obufuzi agakunganyizibbwa agakiririza mu bufuzi obwawamu n’e diini okusobola okumalawo obutabanguko bwonna.  Aba SDA batunulira olukungaana, luno nga obulimba obw’ekika ekya waggulu Yokaana bwayita “Babuloni ekinene.  Bakitegeera, era nti obubaka bwa Katonda obw’ekisa eri ensi nga Kristo tanadda mumaanyi n’ekitiibwa bulibamu okulabula ku bulimba buno obukulu no mugendo bwa makanisa nokuyita bonna abanalondawo okusigala nga bawulize eri Katonda okuva mu makanisa agalina akakwate ne Babuloni.” SDA Encyclopedia, Vol 10 eya Bible Commentary Reference Series, pg. 410-411 (pg. 362-363 en 1966 Edition).

     Ekanisa ya SDA egamba ki eri ba memba baayo?  Nti ekanisa yonna etabaganye n’mugendo gwa makanisa ne WCC efuuka kitundu ku Babuloni ekinene, era nabo abalondawo okuwereza Katonda n’okusigala nga bawulize Gyali bateekwa okweyawula ku kanisa eyo.
     Ekanisa SDA awatali kubusabusa yatabagana n’omugendo gwa makanisa ate era bali bumu ne WCC.  Olw’ensonga ezo ekanisa ya SDA yerangirira okuba ekitundu ku Babuloni ekinene era netegeeza abantu baayo okweyawula kuyo okusobola okusigala nga bawulize eri katonda!

     Tetulabye nti ekanisa ya SDA n’obukulembeze babadde balimba abantu baabwe okumala ebbanga--nga kikakasibbwa ebiwandiiko ebya mazima ebingi byetulabye.  Ate era tetulabye nti ekanisa ya SDA yatabagana mu busatu ne Roma, ne Protestant enkafiiri, naye era twakizuula nti bekobana ne WCC ne NCC n’omugendo gwa makanisa g’ensi.  Ekanisa ya SDA teri mukukiriziganya ate nga ekola nga ey’omukago ne n’ebibiina bino ebya Babuloni, naye era bawaayo n’obuwagizi bw’ensimbi okusobola okutukiriza ebigendererwa bye kanisa y’ensi emu n’enteekateeka empya ey’ensi yonna, n’okutta abantu abataliiko musango abatakiriziganya n’enteekateeka za setani omusota ogw’edda era omulyolyomi.
     Tetulabye nti ekanisa ya SDA kitundu ku Babuloni ekinene kyokka, naye era tukizudde nti ekanisa ya SDA yenyini ekkikiriza era nga egamba abantu baayo okujjawukanako!  Naye newankubadde nga ekanisa ya SDA teyalikiriza bino, naye amazima amawandiike gakakasa kino okuba ekituufu.  Era Katonda ayagala abantu be ab’amazima bakole ki ekifa kukutabagana oba okubeera memba mu kanisa yonna etabaganye ne Babuloni ekinene?
     “Oluvanyuma lwe’ebyo nendaba malaika omulala nga akka okuva mu ggulu, nga alina obuyinza bungi; n’ensi nemulisibwa ekitiibwa kye.  Nayogerera waggulu n’eddobozi eryamanyi, nga ayogera nti kiggudde, kiggudde Babuloni ekinene, nekifuuka ekisulo kya balubaale, nekkomera erya buli nyonyi embi ekyayibwa.  Kubanga olw’omwenge gw’obusungu bw’obwenzi bwe amawanga gonna (oba amakanisa gonna-- laba SDA Bible Commentary, Vol. 7, pg. 979 col. 2) gagudde; ne’bakabaka b’ensi ne bayenda naye, nabasubuuzi b’ensi nebagaggawala olwa-maanyi g’obukaba bwe.  Nempulira eddobozi eddala eriva mu ggulu, nga lyogera nti, Mukifulumemu mwe abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye: Kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebyonoono bye.” Kub.18:1-5.

     Obubaka buno obusembayo obw’ekisa bulaga buli muntu owa buli kanisa eyo ettabaganye ne Babuloni ekinene (nga Roma, Protestant enkafiri, Seventh Day Adventism, NCC/WCC, omugendo tabamiruka ogwa’makanisa, neddini ez’emyoyo), nti singa bagenda mu maaso n’okuba ba memba, bagya kugabana kyenkanyi ku bibi bye era nga bajja kugabana ku biboonyobonyo.  Era nga engeri yokka Katonda gyataddewo eri abantu be okutambula nga bewala okugabana ku bibi bye n’obutazikirizibwa awamu n’ekanisa zaabwe enkafiri, kwe kwawukana n’okusalako obwa memba bwabwe okuva mu kanisa zaabwe, balyoke batabaganne ne Yesu Kristo okusobola okufuna ekisa kye n’obutukirivu bwe--.  Olwo noo bekakase obulamu obw’emirembe n’emirembe.
     NAYE BWEMUSIGALA NGA MULI BA MEMBA MU KANISA YONNA NGA MWOZINGIDDE NE KANISA YA SDA--EYO’EREKULIDDE OBWA BOOBWE BWAAYO ERI KATONDA NEFUUKA; OBUKAFIIRI OLW’OKUTABAGANA NE WCC NE BABULONI EKINENE, OLWO NNO GWE KENYINI OSUDDE OBW’ENVUMA BWO OBWEOKUBEERA ABAANA BA’KATONDA OLW’OKUTABAGANA NE WCC NE BABULONI EKINENE OKUYITA MU BWA MEMBA BWO MU KANISA!  OLWO OYINZA OTYA OKUFUNA AKABONERO KA KATONDA OMULAMU OKUSOBOLA OKUTUUKA MU GGULU?  KIBA KIZIBU NNYO KUBANGA OBALIBWA MU KUGUBANA OMUGABO GWO KU BIBI BYE KANISA YO EYATABUKATABUKA ERA NGA TEKYALI NGA’NZI ERI KATONDA!
     “Tekkisoboka gwe okutabagana n’ababi, ate n’osigala nga oli mulungoofu.  Abatukuvu batabaganya batya nabatali batukuvu oba omusana gutabagana gutya n’ekkizikkiza?  Era Kristo atabagana atya ne Baali?  Katonda ne Kristo ne bamalayika abomu ggulu baagala omuntu ategeera nti singa atabagana n’ababi, ajja kufuuka mubi.” SDA Bible Commentary, Vol. 6, pg 1102.

     “Abo abanaba abasikka ba Katonda, era abasikka awamu ne Yesu Kristo mu busikka obutagwaawo bajja kuba banvuma.  Yee, nga bagaanzi okutuuka okuba nti Katonda abasaako akabonero akalaga nti Babe, nga Babe ddala.  Mulowooze mwe nti Katonda ajja kufuna, kugulumiza abantu abatabaganye n’ensi nti babawukanyeko mu linya kyokka?...Ekiseera kinatera ekyokumanya ani ali ku ludda lwa mukama oyo atakwatiibwa nsonyi ku lwa Kristo”. Testimonies, Vol. 1, pg. 287.

     Tewali ngeri yonna omuntu yenna nga memba wa kanisa yonna---nga mwotwalidde ne kanisa ya SDA ngatabaganye ne WCC ne Babuloni ekinene, oba n’eddini endala zonna eza setani oba ebitongole bye, ayinza okufuna akabonero ka Katonda okutuusa nga bamaze okukutula ebisiba byonna n’obwegaafu ne kanisa ezatabukatabuka, era ne beyoleka okubeera ab’envuma eri Katonda-- yawukana n’ekibi n’ababi.  Era bwebagana okwawukana, nebasigala kuludda lwa Babuloni, olwo nno nebakyoleka nti basonyiwala ku lwa Kristo kubanga tebajja kukiriza ddoboozi lye ery’okwawukana basobole okweraga nti bantu banvuma abayimiridde ku lwa Kristo!  Ekinaddirira kuzikirizibwa, n’ekanisa zaabwe ezatabukatabuka.
     “Malaika ajja kuteeka ku byeenyi byaabo bonna abawukanye ku kibi nababi, ne malaika omuzikiriza anagoberera okuttira ddala abakadde nabaato”.  Testimonies, Vol. 5, pg. 505.

     Engeri yokka eyokuddamu okufuna obw’envuma bwo era oddemu okuba omuntu omulonde wa Katonda kwekwawukanira ddala okuva mu makanisa gonna agali ekitundu ku?  N’okutabagana ne, Babuloni ekinene____ nga ye Roma enkatuliki, ne Protestant enkafiri, Seventh Day Adventistism, WCC/NCC, omugendo gwa makanisa tabamiruka n’amaddini amalala ag’emyooyo.  Okutuusa nga okutte ekkubo eggolokofu effunda ery’okwawukana toli omu ku bagoberezi ba Katonda oba omu ku bana be!
     “Okutabagana okwakolebwa aba Isirayiri nebanagwanga baliranwa baabwe kwavaamu okufiirwa engoma nga abantu ab’envuma aba Katonda....
     “Olwaleero okuyita kwa Katonda eri abantu Be kuli nti: ‘Mubaveemu, mweyawule, temukwata ku kitali kirongofu; nange najja mummwe nnaba Katonda waamwe, namwe munaaba batabani banga nebawala banga’.  `Muli gwanga ddonde, kika kitukuvu, bakabona ba kabaka bantu banvuma mulyoke mubuulirenga ebirungi by’oyo eyabayita okuva mukizikiza okuyingira mu kutangaala kwe okw’ekitalo’.
     “Abantu ba Katonda baakuteegerwa ng’abantu abamuwereza mu bujjuvu, n’omutima gwaabwe gwonna nga tebewa kitiibwa bo benyini, ate nga bajjukira nti nga batukiriza endagaano nti bewaayo okuwereza Mukama era Mukama yekka”.  Review & Herald, August 4, 1904 (Vol 5, pg. 63).

     Tufuna ddi nate obw’envuma bwaffe eri Katonda okufuuka batabani be ne bawaka be, ne Katonda okufuuka Kitaffe?  OKUTUUSA nga tweyawudde ne bisiba byaffe n’amakanisa amakafiri ate nga gaagwa agaakola Babuloni ekinene; ssi nga tetunaba, naye nga tumaze okwawukana!  Engeri yokka gyoyinza okulagaana okuwereza Katonda era Katonda yekka kwekukutula ebisiba byonna nendagaano-- oba obwa memba--bwolina N’abedda.  Ate era okutuusa nga omenyeewo enkolagana yo ne Kanisa enkafiri, toli mwana wa Katonda, naye si Katonda wo era ssi Kitaawo, era n’eggulu si maka go.

     Katonda tasaba bantu be okuyita mu mbeera eno eyokwetukuza nga beyawula kyokka, naye nga yasuubiza okutuyamba bwetunalondawo okukyuuka okudda Gyali n’omutima gwaffe gwonna netutandiika okugoberera akakubo kano akafunda.  So nga; Katonda tajja kuwaliriza muntu yenna kukyuuka kudda gyali nga bawukanira ddala n’okukutula ebibasiba byonna ku makanisa ga Babuloni.  Kino kya kyeyagalire.
     Kale okusalawookkwo kunaabera ki?  Onosigala ogiggubidde mu bumu ne Babuloni ekinene era osigale nga osibiddwa mu buvundu bwaakyo?  Oba ogenda kugondera Katonda?  Era oyite mu mbeera eno eyokwetukuza nga okutula ebisiba byonna ku kibi n’abibi, yawukana okuva mu makanisa gonna-- nga mwotwalidde ne Kanisa ya SDA--- nga kitundu ku Babuloni ekinene, ofune nate obw’envuma bwo ne Katonda, ngofuuka mwana we nate?  Onokola endagaano eno eyokwewaayo nga sadaaka enamu ng’odda eri Katonda, Onosumatukka okugabana ku bibi bye nokugabana ku bibonyoobonyo bye?  Oba onogugubira ku kanisa?  Ogabane ku bibi byaayo, era obonyaboonyezebwe obusungu bwa Katonda?
     “Mulituusa wa okutta aga naga nga mulowooza wabiri?  Mukama oba nga ye Katonda mumugoberere: naye oba Baali kale mumugoberere ye.”  1 Bassekabaka 18:21.

     “Era oba nga mulowooza nga kibi okuweerezanga Mukama, mulonde leero gwe munaweerezanga;... naye nze n’enyumba yange, ffe tunaweerezanga Mukama.” Yoswa 24:15.

     “Mu baluwa ya Paulo eri Tito, esuula 2:13-14, tusoma tuti; nga tulindirira essuubi ery’omukisa n’okulabika kw’ekitiibwa kya Katonda omukulu era omukulozi waffe Yesu Kristo; eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwonna, era yeerongooseze eggwanga ery’envuma, eriyiikirira ebikolwa ebirungi.  Omlimu guno omukulu gwakukolebwa olwaabo bokka ABASSAZEEWO OKUTUKUZIBWA; nga basuubira okubeera ab’envuma era abooleka obujjumbize ne bikoolwa ebirungi”. Testimonies, Vol. 1, pg. 274.

     “Era ndibawa omutima okummanya nga ndi Mukama: era banaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda waabwe; kubanga balikomawo gye ndi n’omutima gwabwe gwonna.” Yeremiya 24:7.